Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abajulirwa ba Yakuwa Bawera Firimu, Ebitabo, oba Ennyimba Ezimu?

Abajulirwa ba Yakuwa Bawera Firimu, Ebitabo, oba Ennyimba Ezimu?

 Nedda. Ekibiina kyaffe tekisooka kukebera firimu, ebitabo, oba ennyimba, ne kisalirawo abagoberezi baakyo bye basobola okukozesa oba bye batasobola kukozesa. Lwaki?

  Bayibuli ekubiriza buli omu okukozesa ‘okusobozi bwe obw’okutegeera’ okusobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.​—Abebbulaniya 5:14.

  Bayibuli erimu emisingi egisobola okutuyamba okusalawo eby’okwesanyusaamu bye tusaanidde okulondawo. a Mu mbeera zonna ez’obulamu, ekigendererwa kyaffe kwe ‘kumanya ebyo ebikkirizibwa Mukama waffe.’​—Abeefeso 5:10.

  Bayibuli eyigiriza nti emitwe gy’amaka balina obuyinza obw’ekigero ku b’omu maka gaabwe. N’olwekyo, bayinza obutakkiriza ba mu maka gaabwe kukozesa bya kwesanyusaamu ebimu. (1 Abakkolinso 11:3; Abeefeso 6:1-4) Kyokka tewali n’omu alina buyinza kusalirawo abo abatali ba mu maka ge firimu ze batalina kulaba, ennyimba ze batalina kuwuliriza, oba ebitabo bye batalina kusoma.​—Abaggalatiya 6:5.

a Ng’ekyokulabirako, Bayibuli evumirira ekintu kyonna ekitumbula eby’obusamize, ebikolwa eby’obugwenyufu, oba ebikolwa eby’obukambwe.​—Ekyamateeka 18:10-13; Abeefeso 5:3; Abakkolosaayi 3:8.