Buuka ogende ku bubaka obulimu

Lwaki Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye Bakuzaamu Omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe Eyawukana ku y’Amadiini Amalala?

Lwaki Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye Bakuzaamu Omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe Eyawukana ku y’Amadiini Amalala?

 Tukwata omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu, era oguyitibwa ‘eky’Ekiro kya Mukama Waffe,’ nga tugoberera obulagirizi obuli mu Bayibuli. (1 Abakkolinso 11:20) Ku luuyi olulala, ebintu bingi amadiini amalala bye bakkiririzaamu era bye gakola ebikwataganyizibwa n’omukolo ogwo, tebyesigamiziddwa ku Bayibuli.

Ekigendererwa

 Ekigendererwa ky’okukwata eky’Ekiro kya Mukama Waffe, kwe kulaga nti tusiima ssaddaaka Yesu gye yawaayo ku lwaffe. (Matayo 20:28; 1 Abakkolinso 11:24) Okujjukira okufa kwa Yesu si mukolo bukolo ogw’eddiini ogusobozesa abantu okusonyiyibwa ebibi byabwe. Bayibuli eyigiriza nti ebibi byaffe bisobola okusonyiyibwa olw’okukkiririza mu Yesu, so si kukuza mukolo gwa ddiini.​—Abaruumi 3:25; 1 Yokaana 2:1, 2.

Emirundi emeka?

 Yesu yalagira abagoberezi be okujjukiranga okufa kwe, naye teyababuulira mirundi emeka gye bandikujjukidde. (Lukka 22:19) Abamu balowooza nti omukolo ogwo gulina kukwatibwa buli mwezi, abalala bagukwata buli wiiki, buli lunaku, emirundi egiwerako mu lunaku, ate abalala balowooza nti guyinza okukwatibwa ekiseera kyonna omuntu w’aba ayagalidde. Naye lowooza ku bino wammanga.

 Yesu yatandikawo omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe ku lunaku Abayudaaya lwe baakwatanga Okuyitako, era yafa ku lunaku olwo lwennyini. (Matayo 26:1, 2) Ekyo tekitwewuunyisa. Ebyawandiikibwa bigeraageranya ssaddaaka ya Yesu ku mwana gw’endiga ogwattibwanga ku Kuyitako. (1 Abakkolinso 5:7, 8) Okuyitako kwakwatibwanga omulundi gumu mu mwaka. (Okuva 12:1-6; Eby’Abaleevi 23:5) Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abaasooka a bajjukiranga okufa kwa Yesu omulundi gumu buli mwaka, era Abajulirwa ba Yakuwa tugoberera enkola y’emu.

Olunaku n’ekiseera

 Olunaku Yesu lwe yatandikawo omukolo gw’okujjukira okufa kwe lutuyamba okumanya olunaku n’ekiseera kye tusaanidde okukwatiramu omukolo ogwo. Yatandikawo omukolo ogwo ng’enjuba emaze okugwa mu mwezi gwa Nisaani nga 14, 33 E.E., okusinziira ku kalenda y’Abayudaaya. (Matayo 26:18-20, 26) Ne leero tujjukira okufa kwa Yesu ku lunaku olwo buli mwaka nga tugoberera enkola Abakristaayo abaasooka gye baali bagoberera. b

 Wadde ng’olunaku lwa Nisaani 14, 33 E.E. lwali Lwakutaano, olunaku olwo luyinza okugwa ku lunaku olw’enjawulo buli mwaka. Okusobola okumanya olunaku lwa Nisaani 14 lwe lunaatuuka buli mwaka, tugoberera enkola eyagobererwanga mu kiseera kya Yesu, mu kifo ky’okugoberera enkola egobererwa nga basinziira ku kalenda y’Abayudaaya ey’omu kiseera kino. c

Omugaati n’envinnyo

 Yesu bwe yali atandikawo omukolo gw’okujjukira okufa kwe, yakozesa omugaati ogutaliimu kizimbulukusa n’envinnyo emmyufu ebyali bisigaddewo ku mukolo gw’Okuyitako. (Matayo 26:26-28) Okufaananako Yesu, naffe tukozesa omugaati ogutaliimu kizimbulukusa era ogutateekeddwamu kintu kyonna, n’envinnyo emmyufu. Tetukozesa mubisi gw’ezzabbibu oba envinnyo eteekeddwamu ebiwoomerera oba ekirungo ekirala kyonna.

 Amadiini agamu gakozesa omugaati ogulimu ekizimbulukusa, naye ekizimbulukusa kikozesebwa mu Bayibuli okukiikirira ekibi oba ekintu ekyonooneddwa. (Lukka 12:1; 1 Abakkolinso 5:6-8; Abaggalatiya 5:7-9) N’olwekyo, omugaati ogutaliimu kizimbulukusa era ogutaliimu kintu kirala kyonna, gwe gwokka ogusobola okukiikirira omubiri gwa Yesu ogutaalina kibi. (1 Peetero 2:22) Ekintu ekirala ekikolebwa amadiini agamu ekikontana ne Bayibuli, kwe kukozesa omubisi gw’ezzabbibu mu kifo ky’envinnyo. Amadiini agamu gakola bwe gatyo olw’endowooza eteesigamiziddwa ku byawandiikibwa gye galina, nti kikyamu okunywa omwenge.​—1 Timoseewo 5:​23.

Omugaati n’envinnyo bubonero, so si mubiri na musaayi gwa Yesu byennyini

 Omugaati ogutaliimu kizimbulukusa n’envinnyo emmyufu ebikozesebwa ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu, bubonero obukiikirira omubiri gwa Yesu n’omusaayi gwe. Ebintu ebyo tebifuukamu mubiri gwa Yesu n’omusaayi gwe gwennyini ng’abamu bwe bakkiriza. Ka tulabe ensonga lwaki tugamba bwe tutyo.

  •   Singa Yesu yalagira abagoberezi be okunywa omusaayi gwe, yandibadde yamenya etteeka lya Katonda erigaana abantu okulya omusaayi. (Olubereberye 9:4; Ebikolwa 15:28, 29) Naye ekyo tekisoboka, kubanga Yesu yali tayinza kulagira bantu kumenya tteeka lya Katonda erikwata ku musaayi.​—Yokaana 8:28, 29.

  •   Singa abatume baali banywa musaayi gwa Yesu gwennyini, Yesu teyandibagambye nti omusaayi gwe ‘gwali gugenda kuyiibwa,’ ekiraga nti yali tannawaayo ssaddaaka ye.​—Matayo 26:28.

  •   Ssaddaaka ya Yesu yaweebwayo “omulundi gumu.” (Abebbulaniya 9:25, 26) N’olwekyo, singa omusaayi n’envinnyo byali bifuukamu omusaayi n’omubiri gwa Yesu byennyini ku mukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe, abo abalya ku mugaati era abanywa ne ku nvinnyo bandibadde ng’abaddamu okuwaayo ssaddaaka eyo.

  •   Yesu yagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga, so si “okumpangayo nga ssaddaaka.”​—1 Abakkolinso 11:24.

 Abo abakkiriza nti omugaati n’envinnyo bifuuka omubiri n’omusaayi gwa Yesu byennyini, basinziira ku nzivuunula za Bayibuli ezimu. Ng’ekyokulabirako, enkyusa za Bayibuli ezimu ziraga nti Yesu bwe yali ayogera ku nvinnyo, yagamba nti: “Guno musaayi gwange.” (Matayo 26:28) Kyokka, ebigambo bya Yesu ebyo era bisobola okuvvuunulwa nti: “Kino kitegeeza omusaayi gwange,” oba “Kino kikiikirira omusaayi gwange.” d Nga Yesu bwe yateranga okukola, na wano yali ayigiriza ng’akozesa olulimi olw’akabonero.​—Matayo 13:34, 35.

Baani abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo?

 Abajulirwa ba Yakuwa bwe baba bakwata omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe, batono nnyo ku bo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo. Lwaki?

 Omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa gwatandikawo “endagaano empya” eyadda mu kifo ky’endagaano y’amateeka Yakuwa Katonda gye yakola n’eggwanga lya Isirayiri ery’edda. (Abebbulaniya 8:10-13) Abo abali mu ndagaano eyo empya be balya ku mugaati era ne banywa ne ku nvinnyo. Abakristaayo bonna tebali mu ndagaano eyo, wabula abo bokka Katonda be ‘yayita’ mu ngeri ey’enjawulo. (Abebbulaniya 9:15; Lukka 22:20) Abo bajja kufugira wamu ne Yesu mu ggulu, era Bayibuli eraga nti bali abantu 144,000 bokka.​—Lukka 22:28-30; Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1, 3.

 Ng’oggyeeko abo abali mu ‘kisibo ekitono’ abajja okufugira awamu ne Yesu mu ggulu, abasinga obungi ku ffe tulina essuubi ery’okuba mu ‘kibiina ekinene’ eky’abantu abajja okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. (Lukka 12:32; Okubikkulirwa 7:9, 10) Wadde nga ffe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi tetulya ku mugaati era tetunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe, tubeerawo ku mukolo ogwo okulaga nti tusiima ssaddaaka Yesu gye yawaayo ku lwaffe.​—1 Yokaana 2:2.

a Laba ekitabo, The New Schaff-Herzog Encyclopedia of Religious Knowledge, Omuzingo IV, olupapula 43-44, n’ekitabo Cyclopedia ekya McClintock ne Strong, Omuzingo VIII, olupapula 836.

b Laba The New Cambridge History of the Bible, Omuzingo 1, olupapula 841.

c Okusinziira ku kalenda y’Abayudaaya ey’omu kiseera kino, olunaku olusooka olw’omwezi gwa Nisaani lutandika ng’omwezi gwakaboneka, naye eyo si ye nkola eyagobererwanga mu kyasa ekyasooka. Mu kyasa ekyasooka, omwezi gwa Nisaani gwatandikanga ku lunaku omwezi lwe gwasookanga okulabika mu Yerusaalemi, era ng’ekyo kyabangawo oluvannyuma lw’olunaku lumu oba n’okusingawo oluvannyuma lw’omwezi okuboneka. Eyo ye nsonga lwaki olunaku Abajulirwa ba Yakuwa kwe bakwatira omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu terutera kukwatagana n’olunaku Abayudaaya ab’omu kiseera kino kwe bakwatira embaga y’Okuyitako.

d Laba A New Translation of the Bible, eyavvuunulwa James Moffatt; The New Testament​—A Translation in the Language of the People, eyavvuunulwa Charles B. Williams; ne The Original New Testament, eyavvuunulwa Hugh J. Schonfield.