Buuka ogende ku bubaka obulimu

“Nkola Kye Nsobola”

“Nkola Kye Nsobola”

 Irma, abeera mu Bugirimaani akunukkiriza mu myaka 90 egy’obukulu. Oluvannyuma lw’okugwa ebigwo eby’amaanyi emirundi ebiri n’okulongoosebwa emirundi egiwera, takyasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba nga bwe yakolanga edda. Irma kati abuulira abalala ebikwata ku Katonda ng’abawandiikira amabaluwa. Abantu basiima nnyo amabaluwa agazzaamu amaanyi era agabudaabuda Irma g’abawandiikira, era batera okumukubira essimu nga bamubuuza lw’aliddamu okubawandiikira ebbaluwa endala. Irma naye afuna amabaluwa mangi abantu ge bamuwandiikira okumwebaza era n’okumusaba addemu okubawandiikira. Agamba nti: “Ekyo kindeetera okuba omusanyufu era n’okusigala nga ndi munywevu mu by’omwoyo.”

 Irma era aweereza amabaluwa mu bifo gye balabirira bannamukadde. Agamba nti: “Nnamukadde omu yankubira essimu n’aŋŋamba nti ebbaluwa gye nnamuwandiikira yamubudaabuda nnyo oluvannyuma lw’okufiirwa omwami we. Ebbaluwa eyo yagitereka mu Bayibuli ye era atera okugisoma buli kawungeezi. Omukazi omulala eyali yaakafiirwa omwami we yagamba nti, ebbaluwa gye nnamuwandiikira yamubudaabuda nnyo okusinga ebigambo by’omukulu w’eddiini. Yalina ebibuuzo bingi era yambuuza obanga asobola okunkyalira.”

 Mukwano gwa Irma atali Mujulirwa wa Yakuwa eyasengukira mu kitundu ekirala yamusaba amuwandiikirenga amabaluwa. Irma agamba nti. “Omukyala oyo yaterekanga amabaluwa gonna ge nnamuwandiikira. Oluvannyuma lw’omukyala oyo okufa, muwala we yankubira essimu n’aŋŋamba nti yali asomye amabaluwa gonna ge nnawandiikiranga maama we, era n’ansaba naye muwandiikirenga amabaluwa agakwata ku Bayibuli.”

 Irma anyumirwa nnyo obuweereza bwe. Agamba nti : “Nsaba nnyo Yakuwa ampe amaanyi nsobole okweyongera okumuweereza, wadde nga sikyasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba, nkola kye nsobola.”