Buuka ogende ku bubaka obulimu

Empapula Ezaakwekebwanga Wansi w’Ekyuma Ekyoza Engoyee

Empapula Ezaakwekebwanga Wansi w’Ekyuma Ekyoza Engoyee

 Oluvannyuma lw’okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, Zarina yava e Russia n’addayo mu nsi y’ewaabwe mu Asiya, nga mumalirivu okuyigiriza bawala be ababiri amazima ge yali ayize. Olw’okuba teyali bulungi mu bya nfuna, yasulanga mu nnyumba y’emu ne bazadde be ne mwannyina era ne mukyala wa mwannyina. Bazadde be baamugaana okuyigiriza bawala be Bayibuli. Ate era baagamba bawala be obutayogera naye ku bikwata ku Bayibuli.

 Zarina yalowooza ku ngeri gye yandiyambyemu bawala be okuyiga ebikwata ku Yakuwa. (Engero 1:8) Bwe kityo, yasaba nnyo Yakuwa amuyambe okumanya eky’okukola. Oluvannyuma Zarina alina kye yakolawo. Yatambulanga ne bawala be nga bw’ayogera nabo ku bintu Katonda bye yatonda. Ekyo kyaleetera bawala be okwagala okumanya ebikwata ku Mutonzi.

 Oluvannyuma, Zarina yalowooza ku ngeri gy’ayinza okuyambamu bawala be okumanya ebisingawo, ng’akozesa akatabo Kiki Ddala Baibuli ky’Eyigiriza? a Yakoppololanga ku mpapula obutundu n’ebibuuzo ebiri mu katabo ako. Era yayongerangako ebigambo ebitonotono okuyamba bawala be okutegeera obulungi ensonga. Oluvannyuma yakwekanga empapula ezo wansi w’ekyuma ekyoza engoye. Bawala be bwe baagendangayo, baasomanga ebyabanga biwandiikiddwa ku mpapula ezo era ne baddamu ebibuuzo.

 Ng’akozesa enkola eyo, Zarina yasobola okuyigiriza bawala be essuula bbiri okuva mu katabo Baibuli ky’Eyigiriza, okutuusa lwe yafuna ennyumba ey’okubeeramu ne bawala be. Awo yali asobola okuyigiriza bawala be Bayibuli nga tewali kimukugira. Mu Okitobba 2016, bawala be bombi baabatizibwa, era basanyufu okuba nti maama waabwe yakozesa amagezi n’asobola okubayigiriza amazima agakwata ku Katonda.

a Abantu bangi kati bakozesa akatabo, Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?