Buuka ogende ku bubaka obulimu

Nnyinza Ntya Okwekuuma Abo Abakabasanya Abalala?

Nnyinza Ntya Okwekuuma Abo Abakabasanya Abalala?

Bayibuli ky’egamba

 Lowooza ku magezi gano ageesigamiziddwa ku Bayibuli:

  1.   Weewe ekitiibwa. Kolagana bulungi ne bakozi banno era bawe ekitiibwa, naye weewale okweyisa mu ngeri eyinza okubaviirako okulowooza nti osobola okukkiriza okwegatta nabo.​—Matayo 10:16; Abakkolosaayi 4:6.

  2.   Yambala mu ngeri esaanira. Toyambala ngoye eziyinza okuleetera abalala okufuna ekifaananyi ekikyamu. Bayibuli etukubiriza okwambala engoye ‘ezisaanira era eziweesa ekitiibwa.’​—1 Timoseewo 2:9.

  3.   Kozesa amagezi ng’olonda mikwano gyo. Bw’omala ebiseera ng’oli n’abantu abazannyirira n’abo be batafaanaganya nabo kikula, oba abatafaayo kwegatta n’abalala, naawe bayinza okutandika okuyisa mu ngeri y’emu.​—Engero 13:20.

  4.   Weewale aboogera eby’obuwemu. Bwe muba munyumya ne batandika “okwogera eby’ekisirusiru, oba okusaaga okw’obuwemu,” baviire.​—Abeefeso 5:4.

  5.   Weewale embeera eziyinza okukuviirako emitawaana. Ng’ekyokulabirako, tokkiriza kusigala ku mulimu oluvannyuma lw’ebiseera eby’okukola nga tewali nsonga nnuŋŋamu.​—Engero 22:3.

  6.   Nywerera ku kituufu. Omuntu bw’akola ekintu kyonna ekitasaana era ekiraga nti akwegwanyiza, mulagirewo nti tojja kukkiriza. (1 Abakkolinso 14:9) Ng’ekyokulabirako, oyinza okumugamba nti: “Bw’onkwatako mpulira bubi, era njagala okikomye.” Oyinza okumuwandiikira ebbaluwa n’omutegeeza kye yakoze, engeri gye wawuliddemu, era nti toyagala akiddemu. Munnyonnyole akitegeere bulungi nti okusalawo kwo kwesigamye ku mitindo gy’empisa gy’ogoberera n’enzikiriza yo.​—1 Abassessalonika 4:​3-5.

  7.   Funa obuyambi. Oyo akutawaanya bw’atalekera awo, buulirako mukwano gwo gwe weesiga, omu ku b’omu maka go, oba mukozi munno oba oyo alina obumanyirivu mu kuyamba abantu abaali babaddeko mu mbeera gy’olimu. (Engero 27:9) Abantu bangi abayise mu mbeera eyo basabye Katonda n’abayamba. Ne bw’oba nga tosabangako, tonyooma buyambi bw’osobola okufuna okuva eri Yakuwa, “Katonda ow’okubudaabuda kwonna.”​—2 Abakkolinso 1:3.

 Abakozi bukadde na bukadde bakolera ku bugubi olw’okuba bakabasanyizibwa ku mirimu, naye Bayibuli esobola okubayamba.