Buuka ogende ku bubaka obulimu

Baani Abaali “Abasajja Abasatu Abagezigezi”? Ddala Baagoberera “Emmunyeenye” ey’e Besirekemu?

Baani Abaali “Abasajja Abasatu Abagezigezi”? Ddala Baagoberera “Emmunyeenye” ey’e Besirekemu?

Bayibuli ky’egamba

 Okwawukana ku bulombolombo obukolebwa ku Ssekukkulu, Bayibuli tekozesa bigambo, “abasajja abasatu abagezigezi” oba “bakabaka basatu” bw’eba eyogera ku basajja abatambuze abaagenda okulaba Yesu oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwe. (Matayo 2:1) Mu kifo ky’ekyo, omuwandiisi w’Enjiri ayitibwa Matayo, yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ma’goi bwe yali ayogera ku abo abaagenda okulaba Yesu. Ekigambo ekyo kirabika kitegeeza abo abaakuguka mu kulaguzisa emmunyeenye oba mu bikolwa ebirala eby’obusamize. * Enkyusa za Bayibuli nnyingi zibayita “abalaguzisa emmunyeenye” oba “abagezigezi.” *

 “Abasajja abagezigezi” baali bameka?

 Bayibuli tetubuulira muwendo gwabwe, naye waliwo endowooza ez’enjawulo ezikwata ku muwendo gwabwe. Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia Britannica kigamba nti, “Abantu bangi ababeera mu Asiya bagamba nti abasajja abagezigezi baali 12, ate abo ababeera mu Bulaaya ne mu Amerika bagamba nti baali basatu, oboolyawo nga basinziira ku birabo eby’emirundi essatu, kwe kugamba, ‘zzaabu, obubaani obweru, n’ebyakaloosa ebiyitibwa miira’ (Matayo 2:11) ebyaweebwa omwana.”

 “Abasajja abagezigezi” baali bakabaka?

 Wadde ng’okusinziira ku bulombolombo obukolebwa ku Ssekukkulu abasajja abo balagibwa nga bakabaka mu bifaananyi, tewali we kiragibwa mu Bayibuli nti abasajja abo baali bakabaka. Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia Britannica kigamba nti, nga wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lwa Yesu okuzaalibwa, abantu baagenda bongeramu ebintu ebitali bimu ebikwata ku kuzaalibwa kwa Yesu, era oluvannyuma abantu baatandika okugamba nti abasajja abagezigezi baali bakabaka.

 “Abasajja abagezigezi” baali bayitibwa baani?

 Bayibuli tetubuulira mannya ga basajja abo abalaguzisa emmunyeenye. Ekitabo ekiyitibwa The International Standard Bible Encyclopedia kigamba nti, “abantu baabatuuma amannya (ekyokulabirako, Gaspar, Melchior, ne Balthasar) nga basinziira ku nfumo.”

 Ddi “abasajja abagezigezi” lwe baakyalira Yesu?

 Abasajja abalaguzisa emmunyeenye bayinza okuba nga baakyalira Yesu nga wayiseewo emyezi egiwera oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwe. Ekyo kiri bwe kityo olw’okuba Kabaka Kerode, eyali ayagala okutta Yesu, yalagira batte abaana abalenzi abaali baweza emyaka ebiri n’okudda wansi. Yabalirira emyaka egyo ng’asinziira ku ebyo abalaguzisa emmunyeenye bye baamugamba.—Matayo 2:16.

 Abasajja abalaguzisa emmunyeenye tebakyalira Yesu mu kiro kye yazaalibwamu. Bayibuli egamba nti: “Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng’ali ne Maliyamu nnyina.” (Matayo 2:11) Ekyo kiraga nti Yesu ne bazadde be baali babeera mu nnyumba era yali takyali mwana muwere azazikiddwa mu lutiba.—Lukka 2:16.

 Ddala Katonda ye yalagira “abasajja abagezigezi” okugoberera “emmunyeenye” ey’e Besirekemu?

 Abantu abamu bagamba nti Katonda ye yasindika emmunyeenye gye bayita ey’e Besirekemu okukulemberamu abasajja abalaguzisa emmunyeenye okugenda eri Yesu. Lowooza ku nsonga lwaki ekyo si kituufu.

  •   Eyo eyalabika ng’emmunyeenye yasooka kutwala abasajja abalaguzisa emmunyeenye mu Yerusaalemi. Bayibuli egamba nti: “Abalaguzisa emmunyeenye baava Ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, ne babuuza nti: “Kabaka w’Abayudaaya eyazaalibwa ali ludda wa? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli Ebuvanjuba era tuzze okumuvunnamira.’”—Matayo 2:1, 2.

  •   Kabaka Kerode ye yasooka okugamba abalaguzisa emmunyeenye okugenda e Besirekemu, so si “emmunyeenye.” Kerode bwe yakiwulira nti waliwo “kabaka w’Abayudaaya” ayinza okumuvuganya, yatandika okunoonyereza wa Kristo eyasuubizibwa gye yali ow’okuzaalibwa. (Matayo 2:3-6) Bwe yakimanya nti yali wa kuzaalibwa mu Besirekemu, yagamba abalaguzisa emmunyeenye okugendayo banoonye omwana, era bwe bamuzuula bakomewo bamugambe.

     Ebyo byamala kubaawo abalaguzisa emmunyeenye ne balyoka bagenda e Besirekemu. Bayibuli egamba nti: “Kabaka bwe yamala okubagamba bw’atyo, ne bagenda; emmunyeenye gye baalaba nga bali Ebuvanjuba n’ebakulembera okutuusa lwe yayimirira waggulu mu kifo awaali omwana.”—Matayo 2:9.

  •   Oluvannyuma ‘lw’emmunyeenye’ okulabika, waatandika okubaawo ebintu ebyateeka obulamu bwa Yesu mu kabi era ebyaviirako abaana abataalina musango okuttibwa. Abalaguzisa emmunyeenye bwe baava e Besirekemu, Katonda yabalabula obutaddayo wa Kabaka Kerode.—Matayo 2:12.

 Kiki Kerode kye yakola? Bayibuli egamba nti: “Kerode bwe yalaba ng’abalaguzisa emmunyeenye bamutebuse, n’asunguwala nnyo, n’alagira batte abaana bonna ab’obulenzi mu Besirekemu ne mu bitundu ebiriraanyeewo ab’emyaka ebiri n’okukka wansi, ng’asinziira ku kiseera abalaguzisa emmunyeenye kye baamugamba.” (Matayo 2:16) Katonda yandibadde tasobola okukola kintu ng’ekyo.—Yobu 34:10.

^ lup. 1 Munnabyafaayo Omuyonaani eyaliwo emyaka 2,500 emabega, ayitibwa Herodotus, yagamba nti, abasajja abayitibwa ma’goi abaaliwo mu kiseera kye baali Bameedi (Baperusi) abaakolanga ogw’okulaguzisanga emmunyeenye era n’okunnyonnyola amakulu g’ebirooto.

^ lup. 1 Laba Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Enkyusa ya King James bw’eba eyogera ku abo abaagenda okulaba Yesu ebayita “abagezigezi,” naye tegamba nti baali basatu.