Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba nga Ndi Mwennyamivu?

Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba nga Ndi Mwennyamivu?

Bayibuli ky’egamba

 Yee, kubanga “Katonda abudaabuda abo abaweddemu amaanyi,” asobola okutuwa obuyambi obusingayo obulungi.​—2 Abakkolinso 7:6.

Engeri Katonda gy’ayambamu abennyamivu

  •   Abawa amaanyi. Bw’osaba Katonda, akuwa amaanyi ge weetaaga okwaŋŋanga ekizibu ky’olina. (Abafiripi 4:13) Ba mukakafu nti Katonda akuwulira, kubanga Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo bonna abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:18) Bw’osaba Katonda akuwulira ne bw’oba nga tosobola kumunnyonnyolera ddala ngeri gy’owuliramu.​—Abaruumi 8:26, 27.

  •   Ebyokulabirako ebirungi. Omuwandiisi wa Bayibuli yasaba Katonda nti: “Nkukoowoola nga ndi mu buziba.” Omuwandiisi wa Bayibuli oyo yafuna obuweerero bwe yakijjukira nti Katonda mwetegefu okutusonyiwa ebibi byaffe. Yagamba Katonda nti: “Singa wali otunuulira nsobi, Ai Yakuwa, ani yandisobodde okuyimirira? Kubanga ggwe osonyiyira ddala, bw’otyo olyoke oweebwe ekitiibwa.”​—Zabbuli 130:1, 3, 4.

  •   Abawa essuubi. Ng’oggyeeko okubudaabuda abennyamivu, Katonda era asuubizza okuggyawo ebizibu byonna ebireetera abantu okwennyamira. Katonda bw’anaatuukiriza ekisuubizo ekyo, “Ebintu ebyasooka [nga mw’otwalidde n’okwenyamira] tebirijjukirwa, era tebirisigala mu mutima.”​—Isaaya 65:17.

 Weetegereze: Wadde nga bakimanyi nti Katonda abudaabuda abennyamivu, Abajulirwa ba Yakuwa bwe bafuna obulwadde obw’okwennyamira, bagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi. (Makko 2:17) Abajulirwa ba Yakuwa tebalina bujjanjabi bwe bakubiriza bantu kufuna; bakimanyi nti buli muntu asaanidde okwesalirawo ku lulwe obujjanjabi bw’ayagala.