Buuka ogende ku bubaka obulimu

Mikayiri Malayika Omukulu y’Ani?

Mikayiri Malayika Omukulu y’Ani?

Bayibuli ky’egamba

 Mikayiri, amadiini agamu gwe bayita “Mikayiri Omutuukirivu,” lye linnya lya Yesu bwe yali nga tannajja ku nsi era ne bwe yaddayo mu ggulu. * Mikayiri teyakkiriziganya ne Sitaani ku bikwata ku mulambo gwa Musa, era yayamba malayika okutuusa obubaka bwa Katonda eri nnabbi Danyeri. (Danyeri 10:13, 21; Yuda 9) Mikayiri atuukana n’amakulu g’erinnya lye eritegeeza nti, “Ani Alinga Katonda?” ng’alwanirira obufuzi bwa Katonda era ng’alwanyisa abalabe ba Katonda.​—Danyeri 12:1; Okubikkulirwa 12:7.

 Ka tulabe ensonga lwaki tugamba nti Yesu ye Mikayiri malayika omukulu.

  •   Mikayiri ye “malayika omukulu.” (Yuda 9) Ekitiibwa “malayika omukulu,” ekitegeeza “akulira bamalayika,” kikozesebwa mu nnyiriri bbiri zokka mu Bayibuli. Emirundi gyombi gye kikozesebwa, kikozesebwa ku malayika omu, ekiraga nti malayika alina ekitiibwa ekyo ali omu yekka. Olumu ku nnyiriri ezo lugamba nti Mukama Waffe Yesu eyazuukizibwa “alikka okuva mu ggulu ng’ayogera n’obuyinza, n’eddoboozi lya malayika omukulu.” (1 Abassessalonika 4:16) Yesu alina “eddoboozi lya malayika omukulu” kubanga ye Mikayiri, malayika omukulu.

  •   Mikayiri ye muduumizi w’eggye lya bamalayika. ‘Mikayiri ne bamalayika be baalwana n’ogusota,’ Sitaani. (Okubikkulirwa 12:7) Mikayiri alina obuyinza bungi ku bitonde bya Katonda eby’omu ggulu, kubanga ayitibwa “omu ku balangira abakulu” era “omulangira omukulu.” (Danyeri 10:13, 21; 12:1) Ebitiibwa ebyo biraga nti Mikayiri ye “ssaabaduumizi w’eggye lya bamalayika,” ng’omwekenneenya w’Endagaano Empya ayitibwa David E. Aune bwe yagamba.

     Bayibuli eyogera ku Yesu yekka nti y’alina obuyinza ku ggye lya bamalayika. Egamba nti: ‘Mukama waffe Yesu ajja kuva mu ggulu ng’ali wamu ne bamalayika be ab’amaanyi, mu muliro ogwaka, ng’awoolera eggwanga.’ (2 Abassessalonika 1:7, 8; Matayo 16:27) Ate era Bayibuli egamba nti Yesu “yagenda mu ggulu; era bamalayika n’ab’obuyinza n’ab’amaanyi baateekebwa wansi we.” (1 Peetero 3:21, 22) Tekyandikoze makulu Katonda okussaawo Yesu ne Mikayiri, bombi babeere baduumizi ba bamalayika. N’olwekyo, kikola amakulu okugamba nti amannya Yesu ne Mikayiri ga muntu y’omu.

  •   Mikayiri “aliyimirira” mu ‘kiseera eky’obuyinike ekitabangawo.’ (Danyeri 12:1) Mu kitabo kya Danyeri, ekigambo “okuyimirira” kitera okukozesebwa ku kabaka ayimirira okubaako ekintu eky’amaanyi ky’akolawo. (Danyeri 11:2-4, 21) Yesu Kristo, ayitibwa “Kigambo kya Katonda,” ajja kubaako ky’akolawo nga “Kabaka wa bakabaka” azikirize abalabe ba Katonda bonna era akuume abantu ba Katonda. (Okubikkulirwa 19:11-16) Ekyo ajja kukikola mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo.’​—Matayo 24:21, 42.

^ lup. 1 Waliwo abantu abalala aboogerwako mu Bayibuli abalina amannya amalala, nga mwe muli Yakobo (era ayitibwa Isirayiri), Peetero (era ayitibwa Simooni), ne Saddayo (era ayitibwa Yuda).​—Olubereberye 49:​1, 2; Matayo 10:​2, 3; Makko 3:​18; Ebikolwa 1:13.