Buuka ogende ku bubaka obulimu

Yerusaalemi Ekiggya Kye Ki?

Yerusaalemi Ekiggya Kye Ki?

Bayibuli ky’egamba

 “Yerusaalemi Ekiggya,” ekisangibwa emirundi ebiri mu Bayibuli, kibuga kya kabonero era kikiikirira abagoberezi ba Yesu abagenda mu ggulu okufugira awamu naye mu Bwakabaka bwa Katonda. (Okubikkulirwa 3:12; 21:2) Ate era Bayibuli ebayita omugole wa Kristo.

Ebisobola okutuyamba okumanya Yerusaalemi Ekiggya

  1.   Yerusaalemi Ekiggya kiri mu ggulu. Buli Bayibuli lw’eyogera ku Yerusaalemi Ekiggya eraga nti kikka okuva mu ggulu era bamalayika be bakuuma emiryango gyakyo. (Okubikkulirwa 3:12; 21:2, 10, 12) Ate era olw’okuba ekibuga ekyo kinene nnyo, tekisobola kuba nga kiri ku nsi. Kiweza “sitadiya 12,000,” enjuyi zonna. * (Okubikkulirwa 21:16) N’olwekyo, obugulumivu bwakyo buba bwenkana kumpi kiromita 560 (mayiro 350).

  2.   Yerusaalemi Ekiggya be bagoberezi ba Yesu abayitibwa omugole wa Kristo. Yerusaalemi Ekiggya kiyitibwa “omugole, mukazi w’Omwana gw’Endiga.” (Okubikkulirwa 21:9, 10) Omwana gw’Endiga ye Yesu Kristo. (Yokaana 1:29; Okubikkulirwa 5:12) “Mukazi w’Omwana gw’Endiga,” oba omugole wa Kristo be Bakristaayo abajja okugenda mu ggulu okubeera awamu ne Yesu. Bayibuli egeraageranya enkolagana eriwo wakati wa Yesu n’Abakristaayo abo ku nkolagana ebaawo wakati w’omwami ne mukyala we. (2 Abakkolinso 11:2; Abeefeso 5:23-25) Okugatta ku ekyo, amayinja ag’omusingi gwa Yerusaalemi Ekiggya gawandiikiddwako “amannya 12 ag’abatume ab’Omwana gw’Endiga.” (Okubikkulirwa 21:14) Ekyo kituyamba okwongera okumanya Yerusaalemi Ekiggya okuva bwe kiri nti Abakristaayo abagenda mu ggulu ‘bazimbiddwa ku musingi gw’abatume ne bannabbi.’—Abeefeso 2:20.

  3.   Yerusaalemi Ekiggya kitundu kya gavumenti. Ekibuga Yerusaalemi eky’edda kye kyali ekibuga ekikulu ekya Isirayiri, Kabaka Dawudi, mutabani we Sulemaani, n’abalala gye baafugira nga bakabaka “ku ntebe ya Yakuwa.” (1 Ebyomumirembe 29:23) N’olwekyo, Yerusaalemi ekyali kiyitibwa “ekibuga ekitukuvu,” kyali kikiikirira obufuzi bwa Katonda era bakabaka abaafuganga baali bava mu lunyiriri lwa Dawudi. (Nekkemiya 11:1) Yerusaalemi Ekiggya era ekiyitibwa “ekibuga ekitukuvu,” beebo abagenda mu ggulu ‘okufuga ensi nga bakabaka’ nga bali wamu ne Yesu.—Okubikkulirwa 5:9, 10; 21:2.

  4.   Yerusaalemi Ekiggya kireetera abantu emikisa ku nsi. Yerusaalemi Ekiggya kyogerwako ‘ng’ekikka okuva mu ggulu ewa Katonda,’ ekiraga nti Katonda akikozesa okutuukiriza by’ayagala ku nsi. (Okubikkulirwa 21:2) Ebigambo ebyo bikwataganya Yerusaalemi Ekiggya n’Obwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka obwo Katonda bw’ajja okukozesa okusobozesa by’ayagala okukolebwa “mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Ebimu ku bintu Katonda by’ajja okukolera abantu ku nsi bye bino:

    •   Okuggyawo ekibi. “Omugga ogw’amazzi ag’obulamu” gukulukuta okuva mu Yerusaalemi Ekiggya era gufukirira “emiti egy’obulamu” ‘egiwonya amawanga.’ (Okubikkulirwa 22:1, 2) Okuwonyezebwa okwo kujja kuggyawo ekibi era kusobozese abantu okufuna obulamu obutuukiridde nga Katonda bwe yali ayagala ku lubereberye.—Abaruumi 8:21.

    •   Enkolagana ennungi wakati wa Katonda n’abantu. Ekibi kireetedde abantu okuva ku Katonda. (Isaaya 59:2) Katonda bw’anaaggyawo ekibi, obunnabbi buno bujja kutuukirira mu bujjuvu: “Weema ya Katonda eri wamu n’abantu, era anaabeeranga wamu nabo, era banaabeeranga bantu be. Katonda kennyini anaabeeranga wamu nabo.”—Okubikkulirwa 21:3.

    •   Okuggyawo okubonaabona n’okufa. Okuyitira mu Bwakabaka bwe, Katonda ajja ‘kusangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.’—Okubikkulirwa 21:4.

^ lup. 2 Sitadiya kyali kipimo ekyali kikozesebwa Abaruumi era nga yenkana mita 185 (ffuuti 607).