Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 80

“Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”

“Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”

(Zabbuli 34:8)

  1. 1. Twagala nnyo ’buweereza;

    Bwa muwendo nnyo gye tuli.

    Ebiseera byaffe tubiwaayo

    Tutuuke ku bantu bangi.

    (CHORUS)

    ‘Ka tulegeko tukirabe

    Nti Yakuwa mulungi.’

    Bwe twemalira ku Katonda

    Tuganyulwa nnyo nnyini.

  2. 2. Mu buweereza mulimu

    Emikisa mingi ddala.

    Bwe tumwesiga Katonda waffe

    Tuba bamativu ddala.

    (CHORUS)

    ‘Ka tulegeko tukirabe

    Nti Yakuwa mulungi.’

    Bwe twemalira ku Katonda

    Tuganyulwa nnyo nnyini.