1 Abakkolinso 10:1-33

  • Ebyatuuka ku Bayisirayiri bitulabula (1-13)

  • Okwewala okusinza ebifaananyi (14-22)

    • Emmeeza ya Yakuwa, emmeeza ya badayimooni (21)

  • Eddembe n’okufaayo ku balala (23-33)

    • “Mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa” ((31)

10  Kaakano ab’oluganda, njagala mukitegeere nti bajjajjaffe bonna baali wansi w’ekire+ era bonna baayita mu nnyanja,+  bonna baabatizibwa ng’abagoberezi ba Musa bwe baali wansi w’ekire era bwe baayita mu nnyanja;  bonna baalya emmere y’emu ey’eby’omwoyo,+  era bonna baanywa eky’okunywa kye kimu eky’eby’omwoyo.+ Kubanga banywanga amazzi agaava mu lwazi olw’eby’omwoyo olwabagobereranga, era olwazi olwo lwali lukiikirira Kristo.+  Naye abasinga obungi ku bo Katonda teyabasiima, kyebaava bafiira mu ddungu.+  Ebintu bino byafuuka byakulabirako gye tuli, tulemenga okwegomba ebintu ebibi nga bo bwe baakola.+  Temusinzanga bifaananyi ng’abamu ku bo bwe baakola; nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu ne batuula, ne balya, ne banywa, oluvannyuma ne bayimuka okwesanyusaamu.”+  Tetwendanga* ng’abamu ku bo bwe baayenda, abantu 23,000 ne bafa ku lunaku lumu.+  Tetugezesanga Yakuwa*+ ng’abamu ku bo bwe baamugezesa emisota ne gibazikiriza.+ 10  Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe beemulugunya,+ ne bazikirizibwa omuzikiriza.+ 11  Ebintu bino byabatuukako bibe ebyokulabirako, era byawandiikibwa okutulabula ffe+ abatuukiddwako enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.* 12  N’olwekyo, alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.+ 13  Okukemebwa kwonna kwe mufuna kwekwo abantu bonna kwe bafuna.+ Naye Katonda mwesigwa, tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira,+ naye bwe mukemebwa ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.+ 14  Kale abaagalwa, mudduke okusinza ebifaananyi.+ 15  Njogera nammwe ng’ayogera n’abantu abategeera; mwesalirewo ku ekyo kye ŋŋamba. 16  Ekikopo eky’omukisa kye tusabira omukisa, si kwe kufuna emiganyulo mu musaayi gwa Kristo?+ Omugaati gwe tumenya, si kwe kufuna emiganyulo mu mubiri gwa Kristo?+ 17  Kubanga waliwo omugaati gumu, era naffe wadde nga tuli bangi, tuli omubiri gumu,+ kubanga ffenna tulya ku mugaati ogwo ogumu. 18  Mutunuulire Isirayiri ey’omubiri: Abo abalya ebiweebwayo tebagabanira wamu n’ekyoto?+ 19  Kati olwo kiki kye ntegeeza? Nti ekyo ekiweereddwayo eri ekifaananyi kiriko kye kigasa, oba nti ekifaananyi kiriko kye kigasa? 20  Nedda; ntegeeza nti ebintu amawanga bye gawaayo gabiwaayo eri badayimooni so si eri Katonda;+ era saagala mmwe mugabane ne badayimooni.+ 21  Temuyinza kunywa ku kikopo kya Yakuwa* ne ku kikopo kya badayimooni; Temuyinza kulya ku “mmeeza ya Yakuwa”*+ ne ku mmeeza ya badayimooni. 22  Oba, ‘tuleetera Yakuwa* okukwatibwa obuggya’?+ Tumusinga amaanyi? 23  Ebintu byonna bikkirizibwa, naye si byonna nti bigasa. Ebintu byonna bikkirizibwa, naye si byonna nti bizimba.+ 24  Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, wabula anoonye ebigasa abalala.+ 25  Buli ekitundibwa mu katale k’ennyama mukiryenga, nga temubuuza bibuuzo olw’okutya nti omuntu wammwe ow’omunda ajja kubalumiriza, 26  kubanga “ensi ne byonna ebigiriko bya Yakuwa.”*+ 27  Singa atali mukkiriza abayita ne mugenda, mulye buli ky’abawa nga temubuuza bibuuzo olw’okutya nti omuntu wammwe ow’omunda ajja kubalumiriza. 28  Naye singa omuntu yenna abagamba nti: “Kino kiweereddwayo nga ssaddaaka,” temulya olw’oyo abagambye n’olw’omuntu ow’omunda.+ 29  Bwe njogera ku muntu ow’omunda sitegeeza owammwe, wabula ow’omulala. Wadde nga nnina eddembe, saagala eddembe lyange okusalirwa omusango okusinziira ku muntu ow’omunda ow’omulala.+ 30  Bwe ndya nga nneebazizza, lwaki nvumirirwa olw’ekyo kye ndya nga nneebazizza?+ 31  N’olwekyo, obanga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekintu ekirala kyonna, mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.+ 32  Temwesittazanga Bayudaaya, wadde Abayonaani, wadde ekibiina kya Katonda,+ 33  nga nange bwe nsanyusa abantu bonna mu bintu byonna, nga seenoonyeza bigasa nze+ wabula ebigasa abangi, basobole okulokolebwa.+

Obugambo Obuli Wansi

Mu Luyonaani, por·neiʹa. Laba Awanny.
Laba Awanny.