Eby’Abaleevi 24:1-23

  • Amafuta g’ettaala z’omu weema entukuvu (1-4)

  • Emigaati egy’okulaga (5-9)

  • Eyavvoola erinnya lya Katonda akubwa amayinja (10-23)

24  Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:  “Lagira Abayisirayiri bakuleetere amafuta amalongoofu ag’ezzeyituuni ag’okussa mu ttaala, kizisobozese okwakanga buli kiseera.+  Buli kawungeezi, Alooni anaakoleezanga ettaala era n’akakasa nti zisigala zaakira mu maaso ga Yakuwa okutuusa ku makya, mu weema ey’okusisinkaniramu, mu maaso g’olutimbe oluli okumpi n’essanduuko y’endagaano. Eryo tteeka lya lubeerera mu mirembe gyammwe gyonna.  Bulijjo ajja kuteekanga ettaala ku kikondo ky’ettaala+ ekya zzaabu omulongoofu, mu maaso ga Yakuwa.  “Onoddiranga obuwunga obutaliimu mpulunguse n’obukolamu obugaati 12 obwetooloovu.* Buli kamu kajja kukolebwanga mu bitundu bibiri bya kkumi ebya efa* y’obuwunga.  Ojja kubuteeka ku mmeeza eya zzaabu omulongoofu mu maaso ga Yakuwa.+ Ojja kubuteeka mu mbu bbiri, buli lubu obugaati mukaaga.+  Ojja kuteeka obubaani obweru obulongoofu ku buli lubu, era bujja kuba ng’ekiweebwayo ekikiikirira obugaati,+ ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.  Ku buli Ssabbiiti anaateekanga obugaati obwo mu maaso ga Yakuwa.+ Eno ndagaano ya lubeerera wakati wange n’Abayisirayiri.  Bunaabanga bwa Alooni ne batabani be+ era banaabuliiranga mu kifo ekitukuvu,+ kubanga kintu kitukuvu nnyo eri kabona okuva ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro. Lino tteeka lya lubeerera.” 10  Mu Bayisirayiri mwalimu mutabani w’omukazi Omuyisirayiri nga kitaawe Mumisiri.+ Mutabani w’omukazi oyo yalwana n’omusajja Omuyisirayiri mu lusiisira. 11  Awo mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola erinnya lya Katonda* era n’alikolimira,+ ne bamutwala eri Musa.+ Nnyina yali ayitibwa Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani. 12  Baabaako we bamukuumira okutuusa lwe banditegeeredde ddala ekyo Yakuwa ky’asazeewo.+ 13  Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 14  “Oyo eyakolima mumufulumye ebweru w’olusiisira, era abo bonna abaamuwulira bajja kussa emikono gyabwe ku mutwe gwe, era ekibiina kyonna kijja kumukuba amayinja.+ 15  Era gamba Abayisirayiri nti, ‘Omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we, anaabonerezebwanga olw’ekibi kye. 16  Oyo anavvoolanga erinnya lya Yakuwa, anattibwanga.+ Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Omugwira n’Omuyisirayiri banattibwanga olw’okuvvoola erinnya lya Katonda. 17  “‘Oyo anattanga omuntu naye anattibwanga.+ 18  Oyo anattanga ensolo ey’awaka etali yiye anaagiriwanga; obulamu bunaawebwangayo olw’obulamu. 19  Omuntu bw’anaatuusanga ku munne ebisago, naye anaatuusibwangako ebisago bye bimu.+ 20  Amenya munne eggumba n’erirye linaamenyebwanga. Eriiso linaaweebwangayo olw’eriiso, n’erinnyo olw’erinnyo; ebisago omuntu by’anaatuusanga ku mulala, naye bye binaamutuusibwangako.+ 21  Oyo anattanga ensolo etali yiye anaagiriwanga,+ naye oyo anattanga omuntu anattibwanga.+ 22  “‘Etteeka linaabanga lye limu eri omugwira n’eri Omuyisirayiri,+ kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe.’” 23  Awo Musa n’ayogera n’Abayisirayiri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja.+ Bwe batyo Abayisirayiri ne bakolera ddala nga Yakuwa bwe yali alagidde Musa.

Obugambo Obuli Wansi

Obugaati buno bwabangamu ekituli.
Bibiri bya kkumi ebya efa byali bigyaamu lita 4.4. Laba Ebyong. B14.
Kwe kugamba, erinnya Yakuwa, nga bwe kiragibwa mu lunyiriri 15 ne 16.