Engero 20:1-30
20 Omwenge mukudaazi,+ n’ebitamiiza tebifugika;+Omuntu yenna awaba olw’ebintu ebyo taba wa magezi.+
2 Entiisa ya kabaka eringa okuwuluguma kw’empologoma;+Buli amusunguwaza ateeka obulamu bwe mu kabi.+
3 Kya kitiibwa omuntu okwewala enkaayana,+Naye buli muntu omusirusiru ajja kuzeeyingizaamu.+
4 Omugayaavu talima mu budde obunnyogovu,Kyava asabiriza mu kiseera eky’amakungula kubanga aba talina kantu.*+
5 Ebirowoozo* by’omu mutima gw’omuntu biringa amazzi agali mu luzzi oluwanvu,Naye omuntu omutegeevu abisenayo.
6 Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutajjulukuka,Naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?
7 Omutuukirivu atambulira mu bugolokofu.+
Abaana be* baba basanyufu.+
8 Kabaka bw’atuula ku ntebe ye okulamula,+Yeekenneenya ebintu byonna asobole okuggyamu buli kibi.+
9 Ani ayinza okugamba nti: “Ntukuzza omutima gwange;+Sirina kibi kyonna”?+
10 Ebipimo ebikyamu ne minzaani ezitali ntuufu*—Byombi Yakuwa abikyawa.+
11 Omwana* by’akola bye biraga ki ky’ali,Obanga empisa ze nnongoofu era nga nnungi.+
12 Amatu agawulira n’amaaso agalaba—Byombi Yakuwa ye yabikola.+
13 Toyagalanga kwebaka, si kulwa ng’oyavuwala.+
Zibula amaaso go, obenga n’emmere nnyingi ey’okulya.+
14 Omuguzi agamba nti, “ekintu si kirungi, ekintu si kirungi!”
Ate oluvannyuma n’agenda ne yeewaana nga bw’akiguze ssente entono.+
15 Waliwo zzaabu, n’amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja* mangi,Naye emimwa gy’ab’amagezi gya muwendo nnyo.+
16 Twala ekyambalo ky’omusajja eyeeyimirira omuntu gw’atamanyi;+Twala kye yasingawo bw’aba yakisingawo olw’omukazi omwenzi.*+
17 Emmere omuntu gy’afuna mu makubo amakyamu emuwoomera,Naye oluvannyuma akamwa ke kajjula omusenyu.+
18 Bwe wabaawo okuteesa enteekateeka zigenda bulungi,*+Era lwana olutalo lwo ng’olina obulagirizi obulungi.*+
19 Awaayiriza abalala agenda ayasanguza ebyama;+Tokolagananga n’oyo abungeesa eŋŋambo.*
20 Oyo akolimira kitaawe ne nnyina,Ettaala ye ejja kuzikizibwa ng’enzikiza ekutte.+
21 Obusika obufunibwa mu kululunkanaTebuba na mukisa ku nkomerero.+
22 Togambanga nti: “Nja kuwoolera eggwanga!”+
Essuubi lyo lisse mu Yakuwa,+ ajja kukuyamba.+
23 Ebipima ebikyamu* Yakuwa abikyawa,Ne minzaani ezitali ntuufu si nnungi.
24 Yakuwa y’aluŋŋamya ebigere by’omuntu;+Kale omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye?*
25 Kuba kwesuula mu mutego omuntu okwanguwa okugamba nti, “Kitukuvu!”+
Ate oluvannyuma n’alyoka alowooza ku ebyo bye yeeyamye.+
26 Kabaka ow’amagezi awewa abantu n’aggyamu ababi,+N’abayisaako nnamuziga ewuula.+
27 Omukka oguva mu nnyindo y’omuntu ye ttaala ya Yakuwa,Eyoleka omuntu ky’ali munda.
28 Obwesigwa n’okwagala okutajjulukuka bikuuma kabaka;+Era okwagala okutajjulukuka kwe kunyweza entebe ye ey’obwakabaka.+
29 Ekitiibwa ky’abavubuka ge maanyi gaabwe,+N’obulungi bw’abakaddiye ze nvi zaabwe.+
30 Ebinuubule n’ebiwundu bimalawo* ebikolwa ebibi,+Era okukubibwa kulongoosa omutima.
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ajja kutunula mu kiseera eky’amakungula naye tajja kufuna kantu konna.”
^ Oba, “Ebiruubirirwa.”
^ Obut., “Batabani be.”
^ Oba, “Amayinja agapima abiri agatenkana n’ebipimirwamu ebibiri ebitenkana.”
^ Oba, “Omulenzi.”
^ Oba, “omugwira.”
^ Oba, “zinywera.”
^ Oba, “obulagirizi obw’amagezi.”
^ Oba, “asendasenda n’olulimi lwe.”
^ Oba, “amayinja agapima abiri agatenkana.”
^ Oba, “ekkubo ery’okukwata?”
^ Oba, “bigogola.”