Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’OMUKAAGA

Yayoleka Amagezi n’Obuvumu, era Teyeefaako Yekka

Yayoleka Amagezi n’Obuvumu, era Teyeefaako Yekka

1-3. (a) Nnyonnyola bwe kyali nga Eseza agenda eri kabaka? (b) Kabaka yakola ki ng’alabye Eseza?

ESEZA yatambula mpolampola okwolekera nnamulondo, ng’amameeme gamukuba. Akasiriikiriro kaali ka maanyi, ne kiba nti yali asobola n’okuwulira olugoye lwe bwe lwali lukwakwaya buli lwe yasitulanga ekigere. Wadde nga mu lubiri olwo mwalimu ebintu bingi ebyali bisanyusa okutunuulira, Eseza ebirowoozo bye byonna yabissa ku musajja eyali atudde ku nnamulondo, kubanga mu kaseera ako obulamu bwe bwali mu mikono gye.

2 Kabaka yalaba Eseza ng’ajja n’amuwanikira omuggo gwe ogwa zzaabu. Ekyo kabaka kye yakola kyawonya obulamu bwa Eseza, kubanga kyalaga nti kabaka yali amusonyiye omusango gwe yali azzizza ogw’okugenda gy’ali nga tayitiddwa. Ng’atuuse ku nnamulondo, Eseza yagolola omukono gwe n’akwata ku muggo gwa kabaka.Es. 5:1, 2.

Eseza yeebaza kabaka olw’okumulaga ekisa

3 Kabaka Akaswero yali mugagga nnyo era ng’alina n’obuyinza bungi nnyo. Kigambibwa nti engoye za bakabaka ba Buperusi zaalinga za bbeeyi nnyo, nga mu ssente za leero zandibadde zigula bukadde na bukadde bwa ddoola. Eseza bwe yatunuulira Akaswero mu maaso, yakiraba nti omwami we yali amwagala nnyo. Omwami we yamubuuza nti: “Oyagala ki, [nnaabakyala] Eseza? Era kiruwa kye weegayirira? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka.”Es. 5:3.

4. Kintu ki ekitaali kyangu Eseza kye yalina okukola?

4 Eseza yali alaze okukkiriza okw’amaanyi awamu n’obuvumu obw’ekitalo; yali agenze eri kabaka amwegayirire abantu be baleme kusaanyizibwawo. Wadde nga yali asobodde okutuuka mu maaso ga kabaka, ekyo kye yali alina okuddako okukola tekyali kyangu n’akamu. Yalina okulaga kabaka oyo eyali yeetwala nti wa kitalo nnyo nti omuwabuzi we gwe yali yeesiga yali muntu mukyamu nnyo. Yali amulimbyelimbye, n’amuleetera okuwa ekiragiro nti abantu ba Eseza battibwe. Naye ekyo Eseza yali agenda kukikola atya, era kiki kye tuyigira ku ngeri gye yayolekamu okukkiriza kwe?

Yalonda ‘Ekiseera Ekituufu eky’Okwogereramu’

5, 6. (a) Eseza yakolera atya ku musingi oguli mu Omubuulizi 3:1, 7? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti engeri Eseza gye yayogeramu ne bba yali ya magezi?

5 Eseza ensonga eyo yandibadde agitegeeza kabaka nga n’abalala bawulira? Bwe yandikoze bw’atyo, osanga kyandiweebudde kabaka, era ne kiwa ne Kamani akakisa okuwakanya Eseza bye yandyogedde. Kabaka Sulemaani yali yawandiika dda nti: “Buli kintu kiriko ekiseera kyakyo, . . . ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu.” (Mub. 3:1, 7, NW) Moluddekaayi ateekwa okuba nga yali yayigiriza Eseza emisingi ng’egyo, era Eseza ateekwa okuba nga yali akimanyi nti kikulu nnyo okwogerera mu kiseera ekituufu.

6 Eseza yagamba nti: ‘Kabaka bw’asiima, kabaka ne Kamani bajje leero ku kijjulo kye mmufumbidde.’ (Es. 5:4) Kabaka yakkiriza era n’atumya Kamani. Olaba engeri ey’amagezi Eseza gye yayogeramu ne bba? Teyayogera mu ngeri emuweebuula, era yalinda ekiseera ekituufu asobole okwanja ensonga ze.Soma Engero 10:19.

7, 8. Ekijjulo kya Eseza kyali kitya, era lwaki yalindako okubuulira kabaka ensonga ze?

7 Ekijjulo ekyo Eseza kye yategeka kiteekwa okuba nga kyaliko emmere omwami we gye yali asinga okwagala. Ate era kwaliko n’omwenge ogwandyongedde okubacamula. (Zab. 104:15) Akaswero yanyumirwa nnyo, era n’addamu n’abuuza Eseza kye yali ayagala. Ekyo kye kyali ekiseera ekituufu okubuulira kabaka ensonga ze?

8 Eseza teyalowooza nti ekyo kye kyali ekiseera ekituufu, era yaddamu n’ayita kabaka ne Kamani ku kijjulo ekirala ku lunaku olwaddirira. (Es. 5:7, 8) Lwaki Eseza yalindako? Kijjukire nti ab’eggwanga lye bonna baali bagenda kuttibwa olw’ekiragiro kabaka kye yali ayisizza. N’olwekyo okusobola okutaasa obulamu bwabwe, Eseza yalina okulonda ekiseera ekituufu okwogera ne kabaka. Bw’atyo yalindako, era ekyo ne kimuwa n’akakisa okulaga bba nti yali amussaamu nnyo ekitiibwa.

9. Lwaki kikulu okuba abagumiikiriza, era tuyigira ki ku Eseza mu nsonga eno?

9 Abantu abasinga tebalina bugumiikiriza, so ng’ate obugumiikiriza kintu kikulu nnyo. Wadde nga Eseza yali ayagala ategeeze mangu kabaka ekyali kimweraliikiriza, yalinda ekiseera ekituufu. Waliwo bingi bye tuyigira ku Eseza. Ffenna oluusi tulaba ebikyamu ebiba byetaaga okutereezebwa. Bwe tubaako n’ensonga gye twagala okwogerako n’omuntu ali mu buyinza, kiyinza okutwetaagisa okulaga obugumiikiriza nga Eseza. Engero 25:15 wagamba nti: “Okugumiikiriza okulwawo ennyo kwe kusendasenda omukulu, n’olulimi olugonvu lumenya eggumba.” Bwe tulonda ekiseera ekituufu, era ne twogera mu ngeri ey’amagezi nga Eseza bwe yakola, tuyinza n’okuleetera omuntu omukalubo ennyo okugonda. Yakuwa yawa Eseza emikisa olw’okuba omugumiikiriza n’olw’okwogera mu ngeri ey’amagezi?

Obugumiikiriza Buvaamu Ebirungi

10, 11. Kiki ekyamalako Kamani essanyu nga yaakava ku kijjulo, era mukazi we ne mikwano gye baamugamba kukola ki?

10 Obugumiikiriza bwa Eseza bwavaamu ebibala. Kamani yava ku kijjulo ‘nga musanyufu era ng’ajaguza mu mutima gwe,’ olw’okuba yali alowooza nti kabaka ne nnaabakyala baali bamwagala nnyo. Kyokka bwe yali afuluma mu mulyango gw’olubiri yalaba Moluddekaayi, Omuyudaaya oyo eyali agaanidde ddala okumuvunnamira. Nga bwe twalaba mu ssuula evuddeko emabega, Moluddekaayi yali tagaanye kuvunnamira Kamani olw’okuba yali amuyisaamu amaaso, wabula lwa kuba omuntu we ow’omunda yali tamukkiriza kukikola, era nga tayagala na kunyiiza Yakuwa Katonda we. Kamani olwalaba Moluddekaayi, obusungu bwajula okumutta.Es. 5:9.

11 Kamani yabuulira mukazi we ne mikwano gye ekyali kimukwasizza obusungu, era baamuwa amagezi akole akalabba ka ffuuti 72 n’okusingawo, asabe kabaka amukkirize awanikeko Moluddekaayi. Ekirowoozo ekyo Kamani yakyagala, era yagenda mangu n’agamba omuntu amukolere akalabba ako.Es. 5:12-14.

12. Lwaki kabaka yasaba bamusomere ekitabo omwali muwandiikiddwa ebikwata ku bwakabaka bwa Buperusi, era kiki kye yazuula?

12 Bayibuli egamba nti ekiro ekyo kabaka yabulwa otulo, era n’alagira bamusomere ekitabo omwali muwandiikiddwa ebikwata ku bwakabaka bwa Buperusi. Mu byamusomerwa mwalimu n’ebyali bikwata ku lukwe olwali lukoleddwa okumutta. Kabaka yali akijjukira bulungi nti abaali mu lukwe olwo baakwatibwa era ne battibwa, naye waliwo empeera yonna eyali eweereddwa Moluddekaayi, eyabaloopa? Amangu ago kabaka yabuuza obanga Moluddekaayi yaliko ekintu kyonna ekyamuweebwa. Abaweereza be bamuddamu nti tewali kyamuweebwa.Soma Eseza 6:1-3.

13, 14. (a) Kamani ebintu byamwonoonekera bitya? (b) Mukyala wa Kamani ne mikwano gye baamugamba ki?

13 Kabaka yasaba bamubuulire mukungu ki eyali okumpi awo eyali asobola okumuyamba okukola ku nsonga eyo. Omanyi nno omukungu eyali okumpi awo? Yali Kamani era nga kirabika yali akedde nnyo ng’ayagala kusaba kabaka amukkirize okutta Moluddekaayi. Kyokka Kamani aba tannabuulira kabaka ekyali kimuleese, kabaka n’amubuuza kiki ekyali kigwanidde okukolerwa omuntu kabaka gwe yali ayagala okuwa ebitiibwa. Kamani yalowooza nti kabaka yali ayogera ku ye, era bw’atyo n’aleeta ekiteeso nti omusajja oyo ayambazibwe ebyambalo bya kabaka, yeebagale embalaasi ya kabaka ayite mu kibuga Susani nga waliwo omukungu amukulembeddemu ng’agenda ayogerera waggulu ebigambo ebimusuuta. Tebeerezaamu Kamani bwe yatunula ng’ategedde nti Moluddekaayi ye musajja kabaka gwe yali ayogerako! Omanyi ani kabaka gwe yagamba okuyisa Moluddekaayi mu kibuga? Yagamba Kamani!Es. 6:4-10.

14 Kamani yakola kabaka kye yamulagira naye nga si musanyufu n’akamu, era oluvannyuma yaddayo ewuwe nga munakuwavu nnyo. Mukazi we ne mikwano gye baamugamba nti ebyo ebyali bibaddewo byali biraga nti yali tajja kuwangula lutalo lwe yali aggudde ku Moluddekaayi.Es. 6:12, 13.

15. (a) Birungi ki ebyava mu bugumiikiriza bwa Eseza? (b) Lwaki kya magezi okuba abagumiikiriza?

15 Olw’okuba Eseza yali mugumiikiriza n’alinda olunaku lumu ne lusooka luyitawo alyoke ategeeze kabaka ensonga ze, kyawa Kamani ekiseera okukola ekintu ekyamuzaalira emitawaana. Olowooza tekiyinzika kuba nti Yakuwa ye yaleetera kabaka okubulwa otulo? (Nge. 21:1) Tekyewuunyisa nno Bayibuli bw’etukubiriza ‘okulindiriranga.’ (Soma Mikka 7:7.) Bwe twesiga Katonda ne tumulindirira atuyambe, ajja kuddamu okusaba kwaffe mu ngeri gye tutasuubira.

Yayogera n’Obuvumu

16, 17. (a) “Ekiseera eky’okwogereramu” Eseza yakifuna ddi? (b) Mu ngeri ki Eseza gye yali ow’enjawulo ennyo ku Vasuti?

16 Eseza yali tasobola kulwawo nnyo nga tannabuulira kabaka nsonga ze; yalina okuzimubuulira ku kijjulo eky’okubiri. Naye yanditandise atya? Bwe baali ku kijjulo, kabaka kennyini yamuwa entandikwa, n’amubuuza kye yali ayagala okusaba. (Es. 7:2) “Ekiseera eky’okwogereramu” kyali kituuse.

17 Eseza ayinza okuba nga yasaba Katonda we mu mutima gwe nga tannayogera bigambo bino: “Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, Ai kabaka, era bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, nkusaba owonye obulamu bwange era nkusaba abantu bange baleme kuttibwa.” (Es. 7:3) Weetegereze nti Eseza yaleka kabaka asalewo obanga kye yali amusaba kyali kirungi oba kibi. Nga Eseza yali wa njawulo nnyo ku Vasuti, muka kabaka eyasooka, eyaweebuula bba! (Es. 1:10-12) Ate era weetegereze nti Eseza teyanenya kabaka olw’okwesiga ebigambo bya Kamani. Wabula, yeegayirira bwegayirizi kabaka amuwonye okuttibwa.

18. Eseza yategeeza atya kabaka ekizibu ekyaliwo?

18 Ekyo Eseza kye yasaba kiteekwa okuba nga kyewuunyisa nnyo kabaka. Muntu ki oyo eyali yeetantadde okutuusa akabi ku mukyala we? Eseza yagattako nti: “Nze n’abantu bange tutundiddwa tusaanyizibwewo, tuttibwe, era tuzikirizibwe. Singa tubadde tutundiddwa kufuuka baddu na bazaana, nnandisirise. Naye akabi kano tekandikkiriziddwa kubaawo kubanga kagenda kufiiriza kabaka.” (Es. 7:4, NW) Weetegereze nti Eseza yategeeza kabaka ebintu byonna bwe byali, era n’ayongerako nti yandibadde asirika singa baali bagenda kubatunda butunzi mu buddu. Naye olw’okuba okutta abantu b’eggwanga lye bonna kyali kigenda kukosa nnyo ne kabaka, yali tasobola kusirika.

19. Kiki kye tuyigira ku ngeri Eseza gye yayogeramu?

19 Ebyo bye tusoma ku Eseza bituyigiriza engeri gye tusaanidde okwogeramu nga twagala omuntu akkirize kye tumugamba. Bw’obaako ekintu ekikuluma ky’oyagala okubuulira omwagalwa wo oba omuntu ali mu buyinza, kiba kirungi n’omubuulira ebintu byonna mu bujjuvu era mu ngeri eraga nti omuwa ekitiibwa, ate era kiba kirungi okulaga obugumiikiriza.Nge. 16:21, 23.

20, 21. (a) Eseza yayanika atya Kamani, era kabaka yawulira atya? (b) Kamani yakola ki nga Eseza amaze okumuloopa eri kabaka?

20 Akaswero yabuuza nti: “Ani era ali ludda wa ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw’atyo?” Kuba akafaananyi nga Eseza asonga olunwe mu Kamani nga bw’agamba nti: ‘Omulabe oyo atatwagala ye Kamani ono omubi.’ Kamani yatya nnyo. Kabaka oyo ow’akasunguyira ateekwa okuba nga yakyuka ku maaso era n’asunguwala nnyo bwe yakitegeera nti omuwabuzi we oyo gwe yali yeesiga ennyo yali amuleetedde okuyisa ekiragiro ekyali kigenda n’okuviirako mukazi we okuttibwa. Kabaka yasituka mangu n’avaawo n’agenda mu luggya akkakkane obusungu.Es. 7:5-7.

Eseza yayoleka obuvumu n’abuulira kabaka ebibi Kamani bye yali akoze

21 Kamani yagwa ku bigere bya nnaabakyala nga yenna akankana. Kabaka bwe yakomawo, yamusanga agudde ku kitanda Eseza kwe yali agalamidde, ng’amwegayirira. Kabaka yasunguwala nnyo era n’amugamba nti yali ayagala kukwatira nnaabakyala mu nnyumba ye. Awo kati ebya Kamani byali bikomye, era baamuggyawo ne bamutwala nga bamubisse mu maaso. Waliwo n’omu ku bakungu be eyamugamba nti Kamani yali akoze akalabba okuwanikako Moluddekaayi. Kabaka bwe yakiwulira n’alagira nti Kamani kennyini y’aba awanikibwako.Es. 7:8-10.

22. Kiki kye tuyigira ku Eseza bwe tubaako n’ebitunyigiriza?

22 Mu nsi eno ejjudde obutali bwenkanya, oluusi tuyinza okwebuuza obanga ddala ekiseera kirituuka ebituluma ne bikolebwako? Naawe oluusi weebuuza ekibuuzo ekyo? Eseza teyaggwamu ssuubi, era okukkiriza kwe kwasigala kunywevu. Ekiseera ekituufu bwe kyatuuka, yayanja ensonga ze eri kabaka, nga mukakafu nti Yakuwa yali ajja kumuyamba. Ka naffe tukolenga bwe tutyo. Yakuwa takyukanga; akyali nga bwe yali mu kiseera kya Eseza. Asobola okukwasiza ababi mu mitego gyabwe gyennyini, nga bwe yakola Kamani.Soma Zabbuli 7:11-16.

Yeewaayo ku lwa Yakuwa ne ku lw’Abantu Be

23. (a) Mpeera ki kabaka gye yawa Moluddekaayi ne Eseza? (b) Obunnabbi Yakobo bwe yayogera ku Benyamini bwatuukirizibwa butya? (Laba akasanduuko, “ Obunnabbi Butuukirizibwa.”)

23 Oluvannyuma kabaka yakitegeera nti Moluddekaayi eyali yamuwonya okuttibwa yalina oluganda ku Eseza, era nti ye yamukuza. Kabaka Akaswero obwakatikkiro yabuwa Moluddekaayi. Ennyumba ya Kamani awamu n’eby’obugagga bye ebirala yabiwa Eseza, era Eseza n’abikwasa Moluddekaayi okubirabirira.Es. 8:1, 2.

24, 25. (a) Lwaki Eseza omutima gwali tegunnamutereera wadde nga yali amaze okwanika olukwe lwa Kamani? (b) Eseza yaddamu atya okussa obulamu bwe mu kabi?

24 Kati olwo Eseza omutima gwali gumusse olw’okuba ye ne Moluddekaayi waali tewali kabi kagenda kubatuukako? Nedda; Eseza yali teyeerowoozaako yekka. Mu kiseera ekyo ebiwandiiko ebyalimu ekiragiro kya Kamani eky’okutta Abayudaaya bonna byali bitwalibwa wonna wonna mu matwale g’obwakabaka bwa Buperusi. Kamani yali yakuba dda akalulu, oba Puli—nga kirabika kuno kwali kulaguza—ategeere olunaku olwandibadde olulungi okuzikiririzaako Abayudaaya. (Es. 9:24-26) Olunaku olwo lwali lugenda lusembera. Waaliwo engeri yonna Eseza gye yali ayinza okuwonyaamu abantu be?

25 Eseza yaddamu n’assa obulamu bwe mu kabi n’agenda eri kabaka nga tayitiddwa. Ku luno yakaaba n’amaziga ne yeegayirira kabaka asazeemu ekiragiro eky’okuzikiriza abantu be. Naye nno amateeka agaayisibwanga mu linnya lya kabaka wa Buperusi gaalinga tegasobola kujjululwa. (Dan. 6:12, 15) N’olwekyo kabaka yawa Eseza ne Moluddekaayi obuyinza okuyisa etteeka eddala. Ekiragiro ekyali kiwa Abayudaaya eddembe okwerwanako kyayisibwa. Ababaka abaali ku mbalaasi baagenda bunnambiro wonna mu bwakabaka bwa Buperusi okutegeeza Abayudaaya amawulire ago amalungi. Abayudaaya bwe baafuna amawulire ago baawulira obuweerero. (Es. 8:3-16) Baatandika okwefunira eby’okulwanyisa bye baali bagenda okukozesa okwerwanako, ekintu kye batandisobodde kukola singa ekiragiro ekipya tekyayisibwa. Naye ddala “Yakuwa ow’eggye” yali agenda kulwanirira abantu be?1 Sam. 17:45, NW.

Eseza ne Moluddekaayi baaweereza ebiwandiiko eri Abayudaaya abaali mu matwale g’obwakabaka bwa Buperusi

26, 27. (a) Buwanguzi bwa ngeri ki Yakuwa bwe yawa abantu be? (b) Bunnabbi ki obwatuukirizibwa abaana ba Kamani bwe baazikirizibwa?

26 Olunaku Kamani lwe yali alonze okuttirako abantu ba Katonda lwagenda okutuuka nga balwetegekedde. Ate era kati n’abakungu bangi mu bwakabaka bwa Buperusi nabo baali ku ludda lwabwe, olw’okuba baali bawulidde nti Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali afuuse katikkiro. Yakuwa yawa abantu be obuwanguzi obw’amaanyi ne bafufuggaza abalabe baabwe. *Es. 9:1-6.

27 Moluddekaayi yali tasobola kuba na buyinza ku nnyumba ya Kamani nga batabani ba Kamani ekkumi bakyali balamu, bwe batyo nabo battibwa. (Es. 9:7-10) Ekyo kyatuukiriza obunnabbi obwali bulaga nti abalabe b’abantu ba Katonda, Abamaleki, baali bajja kusaanyizibwawo. (Ma. 25:17-19) Batabani ba Kamani bayinza okuba nga be bamu ku bantu b’eggwanga eryo abaasemberayo ddala okuzikirizibwa.

28, 29. (a) Lwaki Katonda yakkiriza abantu be okulwana? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti ebyo bye tusoma ku Eseza bituganyula nnyo leero?

28 Wadde nga Eseza yali akyali mukazi muto, yeetikka obuvunaanyizibwa obuzito, gamba ng’okuyisa ekiragiro eky’okulwanyisa n’okutta abalabe b’Abayudaaya. Yakuwa yali tayagala bantu be bazikirizibwe olw’okuba eggwanga lya Isiraeri lye lyali ligenda okuvaamu Masiya eyali ow’okulokola ensi yonna. (Lub. 22:18) Abaweereza ba Katonda ab’omu kiseera kino basanyufu okukitegeera nti Yesu Masiya bwe yajja ku nsi yagaana abaweereza be okwenyigira mu ntalo.Mat. 26:52.

29 Wadde kiri kityo, Abakristaayo balina olutalo olw’eby’omwoyo lwe balwana; Sitaani ayagala okunafuya okukkiriza kwaffe. (Soma 2 Abakkolinso 10:3, 4.) Nga twesiimye okuba nti tulina ekyokulabirako kya Eseza! Ka twoleke okukkiriza ng’okukwe, naffe tube bagumiikiriza, twogerenga mu ngeri ey’amagezi, twolekenga obuvumu, era tweweeyo okulwanirira abantu ba Katonda.

^ lup. 26 Abayudaaya kabaka yabakkiriza era bakozese n’olunaku olwaddako bafufuggalize ddala abalabe baabwe. (Es. 9:12-14) N’okutuusa kati, buli mwaka mu mwezi gwa Adali, oba awo Febwali ng’aggwako oba Maaki ng’atandika, Abayudaaya bajjukira obuwanguzi obwo. Embaga ey’okujjukira obuwanguzi obwo eyitibwa Pulimu, olw’akalulu akayitibwa Puli Kamani ke yakuba ng’akola olukwe lw’okusaanyaawo Abaisiraeri.