Omwagalwa Wo bw’Afa

Ofiiriddwa omuntu gw’oyagala? Weetaaga obuyambi ku ky’okukola ng’oli mu nnaku ey’amaanyi?

Ennyanjula

Akatabo kano kalimu Ebyawandiikibwa ebibudaabuda abakungubaga.

“Tekisoboka!”

Buli lunaku, abantu abali mu bitundu eby’enjawulo eby’ensi bafuna ebizibu eby’amaanyi ennyo bye baba batasuubira.

Kya Bulijjo Omuntu Okwewulira bw’Ati?

Bw’ofiirwa omuntu gw’oyagala ennyo, kiba kikyamu okumukungubagira?

Nnyinza Ntya Okugumira Ennaku Yange?

Kiba kirungi okukweka abalala ennaku gy’olina?

Abalala Bayinza Batya Okuyamba?

Kiyinza okwetaagisa mikwano gy’omuntu afiiriddwa okulowooza ku bye bayinza okukola okubudaabuda munaabwe afiiriddwa.

Essuubi Ekkakafu ery’Okuddamu Okulaba Abaafa

Omuntu bw’afa, hen someone dies, kiruma nnyo buli lw’okirowoozaako nti toliddamu kwogera naye, kuseka naye, oba kumukwatako. Kyokka Bayibuli etuwa essuubi ery’okuddamu okulaba abaafa.