Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 16

Funa Essanyu mu Kuwa Yakuwa Ekisingayo Obulungi

Funa Essanyu mu Kuwa Yakuwa Ekisingayo Obulungi

“Buli omu akebere ebyo by’akola.”​—BAG. 6:4.

OLUYIMBA 37 Okuweereza Yakuwa n’Omutima Gwaffe Gwonna

OMULAMWA *

1. Kiki ekituleetera essanyu?

 YAKUWA ayagala tube basanyufu. Ekyo kiri kityo, kubanga essanyu kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo ggwe omutukuvu. (Bag. 5:22) Okuva bwe kiri nti okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa, tufuna essanyu lingi bwe twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira era ne tuyamba bakkiriza bannaffe mu ngeri ezitali zimu.​—Bik. 20:35.

2-3. (a) Okusinziira ku Abaggalatiya 6:4, bintu ki ebibiri ebinaatuyamba okusigala nga tuli basanyufu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Nga bwe kiragibwa mu Abaggalatiya 6:4, omutume Pawulo ayogera ku bintu bibiri ebijja okutuyamba okusigala nga tuli basanyufu. (Soma.) Ekisooka, ekiruubirirwa kyaffe kisaanidde kuba kya kuwa Yakuwa ekisingayo obulungi, okusinziira ku busobozi bwaffe. Bwe tuba nga tumuwa Yakuwa ekisingayo obulungi okusinziira ku busobozi bwaffe, tusaanidde okuba abasanyufu. (Mat. 22:36-38) Eky’okubiri, tusaanidde okwewala okwegeraageranya n’abalala. Kyonna kye tusobola okukola okusinziira ku mbeera y’obulamu bwaffe, okutendekebwa kwe twafuna, oba obusobozi bwe tulina, tusaanidde okukyebaliza Yakuwa. Tusaanidde okukijjukira nti obusobozi bwonna bwe tulina ye yabutuwa. Ku luuyi olulala, abalala bwe baba nga basobola okukola ebintu ebimu mu buweereza okutusingako, tusaanidde okusanyuka okuva bwe kiri nti baba bakozesa obusobozi bwabwe okutendereza Yakuwa, so si kwenoonyeza byabwe. N’olwekyo mu kifo ky’okuvuganya nabo, tusaanidde okubaako bye tubayigirako.

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebisobola okutuyamba okusigala nga tuli basanyufu bwe tuba nga tuwulira nti tetusobola kuweereza Yakuwa mu bujjuvu nga bwe twandyagadde. Ate era, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukozesaamu obulungi obusobozi bwonna bwe tuyinza okuba nabwo, era ne bye tusobola okuyigira ku balala.

BWE TUBA NGA TUWULIRA NTI TETUSOBOLA KUKOLA BINTU BIMU

Bwe tukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa, tumusanyusa (Laba akatundu 4-6) *

4. Kiki ekiyinza okutuleetera okuwulira nga tuweddemu amaanyi? Waayo ekyokulabirako.

4 Abaweereza ba Yakuwa abamu oluusi bawulira nga baweddemu amaanyi olw’okuba tebakyasobola kukola bintu bimu bye baakolanga olw’okukaddiwa oba olw’obulwadde. Ekyo kye kyatuuka ku mwannyinaffe Carol, eyaweerezaako mu kitundu awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Bwe yali aky’aweerereza mu kitundu ekyo, yalina abayizi ba Bayibuli 35 era bangi ku bo baakulaakulana ne beewaayo eri Yakuwa ne babatizibwa. Carol yafuna ebibala bangi mu buweereza bwe! Naye oluvannyuma yalwala n’aba nga takyasobola kuva waka. Agamba nti: “Nkimanyi nti waliwo ebintu ebimu bye sikyasobola kukola olw’embeera y’obulamu bwange, naye oluusi mpulira nga situukiriza bulungi buweereza bwange ng’abalala. Sisobola kukola buli kimu kye njagala mu buweereza bwange era ekyo kindeetera okuwulira nga mpeddemu amaanyi.” Carol ayagala okukola kyonna ky’asobola mu buweereza bwe eri Yakuwa, era ekyo kisiimibwa nnyo! Tuli bakakafu nti Katonda waffe omusaasizi asiima nnyo ebyo by’asobola okukola.

5. (a) Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe tuba nga tuwulira nti tuweddemu amaanyi olw’ebyo bye tutasobola kukola? (b) Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, ow’oluganda azze awa atya Yakuwa ekisingayo obulungi mu buweereza bwe?

5 Bwe kiba nti oluusi owulira ng’oweddemu amaanyi olw’ebyo by’otakyasobola kukola, weebuuze, ‘Kiki Yakuwa ky’anneetaagisa?’ Anneetaagisa okumuwa ekisingayo obulungi, ekyo kyonna kye nsobola okukola kati. Lowooza ku kino: Mwannyinaffe alina emyaka 80 awulira ng’aweddemu amaanyi olw’okuba takyasobola kukola ebyo bye yakolanga mu buweereza ng’akyali wa myaka 40. Wadde ng’awa Yakuwa ekisingayo obulungi, muli alowooza nti Yakuwa takisiima. Naye ddala ekyo kituufu? Kirowoozeeko. Bwe kiba nti mwannyinaffe oyo yawanga Yakuwa ekisingayo obulungi nga wa myaka 40, era nga na kati ku myaka 80 akyawa Yakuwa ekisingayo obulungi, kiba kitegeeza nti talekeranga awo kuwa Yakuwa ekisingayo obulungi. Singa tutandika okulowooza nti Yakuwa tasiima buweereza bwaffe, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa y’alina obuyinza okutusalirawo ekyo ky’asiima. Bw’owa Yakuwa ekisingayo obulungi okusinziira ku busobozi bwo, Yakuwa ajja kukusiima nnyo!​—Geraageranya Matayo 25:20-23.

6. Kiki kye tusobola okuyigira ku Maria?

6 Tujja kuba basanyufu singa ebirowoozo byaffe tubissa ku ebyo bye tusobola okukola mu kifo ky’okubissa ku ebyo bye tutasobola kukola. Lowooza ku mwannyinaffe Maria, alina obulwadde obumulemesa okukola ebyo byonna bye yandyagadde okukola mu buweereza. Mu kusooka yali mwennyamivu era ng’awulira nti talina mugaso. Naye oluvannyuma Maria yalaba mwannyinaffe omulala mu kibiina kye eyali omulwadde nga tasobola kuva waka, era n’asalawo okumuyamba. Maria agamba nti: “Nnakolanga naye enteekateeka okubuulira ku ssimu n’okuwandiika amabaluwa. Buli lwe nnakolanga naye, nnawuliranga essanyu lingi olw’okuba nnabanga nnyambye muganda wange oyo okwenyigira mu buweereza.” Naffe tusobola okwongera ku ssanyu lyaffe singa ebirowoozo tubissa ku ebyo bye tusobola okukola, mu kifo ky’okubissa ku ebyo bye tutasobola kukola. Watya singa tusobola okukola ekisingawo oba nga waliwo obuweereza obumu bwe tulinamu obumanyirivu?

BW’OBA NG’OLINA EKIRABO, ‘KIKOZESE’!

7. Kubuulirira ki omutume Peetero kwe yawa Abakristaayo?

7 Mu baluwa ye esooka, omutume Peetero yakubiriza baganda be okukozesa obusobozi bwonna bwe baalina okuyamba bakkiriza bannaabwe. Yagamba nti: “Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, akikozesenga okuweereza abalala ng’omuwanika omulungi ow’ekisa kya Katonda eky’ensusso.” (1 Peet. 4:10) Tetusaanidde kutya kukozesa busobozi bwaffe mu bujjuvu nga tutya nti abalala bayinza okutukwatirwa obuggya oba okuggwaamu amaanyi. Bwe tukola tutyo, tuba tetuwa Yakuwa ekisingayo obulungi.

8. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 4:6, 7, lwaki tetusaanidde kwewaana olw’obusobozi bwe tulina?

8 Tusaanidde okukozesa obusobozi bwaffe mu bujjuvu, naye tulina okwegendereza tuleme kwewaana olw’ebyo bye tusobola okukola. (Soma 1 Abakkolinso 4:6, 7.) Ng’ekyokulabirako, kiyinza okuba nga kitwanguyira okutandika okuyigiriza bantu Bayibuli. Tosaanidde kulekayo kukozesa kirabo ekyo mu bujjuvu! Naye tusaanidde okwegendereza tuleme kwewaana olw’obusobozi bwe tulina. Ka tugambe nti waliwo omuntu gwe watandika okuyigiriza Bayibuli gye buvuddeko awo, era weesunga nnyo okubuulirako abo abali mu kibinja kyo ekyokulabirako ekyo. Naye bw’osisinkana abo abali mu kibinja kyo, osanga waliwo mwannyinaffe abanyumiza engeri gye yasobola okuwa omuntu magazini. Kiki kye wandikoze mu mbeera eyo? Okimanyi nti ekyokulabirako kyo kiyinza okuzzaamu ababuulizi abalala amaanyi, naye oyinza okusalawo obutakibabuulira mu kiseera ekyo, oleme kumalamu maanyi mwannyinaffe eyagaba magazini. Ekyo kiba kikolwa kya kisa. Naye tolekaayo kutandika kuyigiriza bantu Bayibuli. Olina ekirabo era kikozese!

9. Tusaanidde kukozesa tutya ebitone bye tulina?

9 Tusaanidde okukijjukira nti ekitone kyonna kye tulina Katonda ye yakituwa. Tusaanidde okukozesa ebitone ebyo okuyamba ekibiina, so si kwegulumiza. (Baf. 2:3) Bwe tukozesa amaanyi gaffe n’obusobozi bwaffe okuweereza Yakuwa, tuba n’ensonga gye tusinziirako okwenyumiriza, si lwa kuba nti tuba tuvuganya n’abalala oba nti twagala okulaga nti tubasinga, wabula olw’okuba twagala okukozesa ebitone byaffe okugulumiza Yakuwa.

10. Lwaki si kirungi kwegeraageranya na balala?

10 Omuntu bw’ateegendereza, ayinza okutandika okwegeraageranya n’abalala ng’asinziira ku ebyo by’alaba nti abasinga okukola obulungi. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu ayinza okuba ng’awa bulungi emboozi za bonna. Naye muli ayinza okuba ng’awulira nti asinga ow’oluganda omulala atawa bulungi mboozi za bonna. Kyokka ow’oluganda atawa bulungi mboozi za bonna ayinza okuba ng’amanyiddwa ng’omuntu asembeza abagenyi, atendeka obulungi abaana be, era omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Nga tuli basanyufu okuba nga tulina baganda baffe ne bannyinaffe abalina obusobozi obw’enjawulo, era ababukozesa okuweereza Yakuwa n’abalala!

BAAKO BY’OYIGIRA KU BALALA

11. Lwaki tusaanidde okufuba okukoppa Yesu?

11 Wadde nga tusaanidde okwewala okwegeraageranya n’abalala, tusobola okuganyulwa bwe tubaako bye tubayigirako. Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kye tusobola okukoppa. Wadde nga tetutuukiridde, tulina bingi bye tusobola okuyigira ku ngeri ze yayoleka n’ebyo bye yakola. (1 Peet. 2:21) Bwe tufuba okumukoppa, tusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri esingako obulungi.

12-13. Biki bye tusobola okuyigira ku Kabaka Dawudi?

12 Mu Kigambo kya Katonda, mulimu ebyokulabirako bingi eby’abasajja n’abakazi be tusobola okukoppa, wadde nga nabo baali tebatuukiridde. (Beb. 6:12) Lowooza ku Kabaka Dawudi, Yakuwa gwe yayogerako ng’omuntu ‘eyali asanyusa omutima gwe.’ (Bik. 13:22) Kyokka Dawudi yali tatuukiridde era yakola ensobi ez’amaanyi. Wadde kyali kityo, yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kye tusobola okukoppa. Lwaki? Kubanga bwe yalagibwa ensobi ze, teyagezaako kwewolereza. Mu kifo ky’ekyo, yakkiriza ensobi ze era ne yeenenya mu bwesimbu. N’ekyavaamu, Yakuwa yamusonyiwa.​—Zab. 51:3, 4, 10-12.

13 Waliwo bye tusobola okuyigira ku Dawudi bwe twebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Bwe mpabulwa nkitwala ntya? Nzikiriza mangu ensobi zange, oba ngezaako okwewolereza? Nnyanguwa okunenya abalala? Nfuba obutaddamu kukola nsobi ze zimu?’ Osobola okwebuuza ebibuuzo bye bimu, bw’osoma ku basajja n’abakazi abalala abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli. Baayolekagana n’ebizibu ebifaanaganako n’ebyo by’oyolekagana nabyo? Ngeri ki ennungi ze baayoleka? Bw’osoma ku buli omu ku bo, weebuuze nti: ‘Nnyinza ntya okukoppa omuweereza wa Yakuwa ono omwesigwa?’

14. Tuganyulwa tutya bwe twetegereza engeri ennungi bakkiriza bannaffe ze booleka?

14 Ate era tusobola okubaako bye tuyiga bwe twetegereza engeri ennungi bakkiriza bannaffe abato n’abakulu ze booleka. Ng’ekyokulabirako, olinayo mukkiriza muno mu kibiina gw’oyinza okulowoozaako agumidde okugezesebwa okumu, gamba ng’okupikirizibwa, okuyigganyizibwa ab’eŋŋanda ze, oba obulwadde? Olina engeri z’olaba mukkiriza munno oyo z’ayoleka naawe ze wandyagadde okweyongera okukulaakulanya? Bw’ofumiitiriza ku kyokulabirako kye ekirungi, naawe kisobola okukuyamba okugumira ebizibu by’oyolekagana nabyo. Tuli basanyufu nnyo okuba nti tulina baganda baffe ne bannyinaffe abatuteerawo ekyokulabirako ekirungi!​—Beb. 13:7; Yak. 1:2, 3.

FUNA ESSANYU MU BUWEEREZA BWO ERI YAKUWA

15. Kubuulirira ki omutume Pawulo kwe yawa okusobola okutuyamba okweyongera okufuna essanyu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa?

15 Okusobola okukuuma emirembe n’obumu mu kibiina, buli omu ku ffe asaanidde okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi okusinziira ku busobozi bwe. Lowooza ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Baalina ebirabo ebitali bimu eby’omwoyo era n’obuvunaanyizibwa obutali bumu. (1 Kol. 12:4, 7-11) Naye ekyo tekyabaleetera buli omu kuvuganya ne munne n’okuleetawo enjawukana. Mu kifo ky’ekyo, omutume Pawulo yakubiriza buli omu okukola ekyetaagisa “okuzimba omubiri gwa Kristo.” Pawulo bwe yali awandiikira Abeefeso, yagamba nti: “Buli kitundu bwe kikola omulimu gwakyo obulungi, omubiri gukula era ne guzimbibwa mu kwagala.” (Bef. 4:1-3, 11, 12, 16) Abo abaakolera ku kubuulirira okwo baakuuma emirembe n’obumu mu kibiina, era ng’ekyo kyennyini kye tulaba mu bibiina byaffe leero.

16. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola? (Abebbulaniya 6:10)

16 Beera mumalirivu obuteegeraageranya na balala. Mu kifo ky’ekyo, baako by’oyigira ku Yesu era fuba okumukoppa. Koppa ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda abeesigwa, ab’edda n’ab’omu kiseera kino. Bw’ofuba okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi, beera mukakafu nti Yakuwa ‘mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwo.’ (Soma Abebbulaniya 6:10.) Weeyongere okufuna essanyu mu kuweereza Yakuwa, ng’oli mukakafu nti asiima ebyo by’okola.

OLUYIMBA 65 Weeyongere mu Maaso!

^ Ffenna tusobola okuganyulwa mu kyokulabirako abalala kye baba bataddewo. Naye tetusaanidde kwegeraageranya na balala. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okusigala nga tuli basanyufu era n’okwewala okugwa mu katego ak’okufuna amalala n’okwegeraageranya n’abalala, ekintu ekiyinza okutumalamu amaanyi.

^ EBIFAANA: Ow’oluganda yaweerezaako ku Beseri ng’akyali muvubuka. Oluvannyuma yawasa era ye ne mukyala we ne baweereza nga ba payoniya. Bwe baazaala abaana, yabatendeka mu mulimu gw’okubuulira. Kati akaddiye, naye era akyeyongera okubuulira n’obunyiikivu ng’akozesa amabaluwa.