Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuba Omukkakkamu​—Kya Magezi

Okuba Omukkakkamu​—Kya Magezi

Mwannyinaffe ayitibwa Toñi, omulimu gw’akola gwa kulabirira bannamukadde. Lumu yakeera ku makya n’agenda okulabirira maama w’omukazi omu. Bwe yatuukayo, omukazi oyo yamuyombesa ng’agamba nti yali atuuse kikeerezi ku mulimu. Naye Toñi yali tatuuse kikeerezi ku mulimu. Wadde kyali kityo, yeetondera omukazi oyo.

NE KU lunaku olwaddako, omukazi oyo yaddamu okuyombesa Toñi. Kiki Toñi kye yakola? Agamba nti: “Embeera eyo teyali nnyangu. Omukazi oyo yali annyombeseza bwereere.” Wadde kyali kityo, ne ku mulundi ogwo Toñi yeetondera omukazi oyo, era n’amugamba yali ategeera ennaku gye yali ayitamu.

Singa ggwe wali Toñi, kiki kye wandikoze? Wandisigadde ng’oli mukkakkamu? Oba kyandikuzibuwalidde okusigala ng’oli mukkakkamu? Ekituufu kiri nti si kyangu kusigala ng’oli mukkakkamu mu mbeera ng’eyo eyogeddwako waggulu. Bwe wabaawo ebintu ebitusumbuwa oba bwe tuyisibwa mu ngeri eteri nnungi, tekitera kuba kyangu kusigala nga tuli bakkakkamu.

Kyokka Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okuba abakkakkamu. Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kiraga nti waliwo akakwate wakati w’obukkakkamu n’amagezi. Yakobo yagamba nti: “Ani mu mmwe alina amagezi n’okutegeera? Omuntu oyo abe n’empisa ennungi eziraga nti buli ky’akola akikola mu bukkakkamu obusibuka mu magezi.” (Yak. 3:13) Mu ngeri ki okuba omukkakkamu gye kiraga nti omuntu alina amagezi agava waggulu? Era kiki ekiyinza okutuyamba okukulaakulanya engeri eyo?

LWAKI KYA MAGEZI OKUBA OMUKKAKKAMU?

Okuba omukkakkamu kikkakkanya embeera. “Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi, naye ekigambo eky’ekkayu kireeta obusungu.”​Nge. 15:1.

Okuddamu n’obusungu kisobola okuviirako embeera okwongera okwonooneka kubanga ekyo kibanga okwongera enku mu muliro. (Nge. 26:21) Ku luuyi olulala, okuddamu n’obukkakkamu kisobola okukkakkanya embeera. Kisobola n’okukyusa endowooza y’omuntu ow’obusungu.

Ekyo Toñi yakirabako n’agage. Toñi bwe yaddamu omukazi oyo n’obukkakkamu, omukazi oyo yakaaba. Omukazi oyo yagamba Toñi nti ebizibu byali bimuyitiriddeko. Toñi yakozesa akakisa ako okubuulira omukazi oyo era n’atandika okumuyigiriza Bayibuli. Ekyo kyasoboka kubanga Toñi yali mukkakkamu.

Okuba abakkakkamu kituyamba okuba abasanyufu. “Balina essanyu abateefu [abakkakkamu], kubanga balisikira ensi.”​Mat. 5:5.

Lwaki abantu abakkakamu basanyufu? Abantu bangi edda abaali abakambwe naye oluvannyuma ne bayiga okuba abakkakkamu kati basanyufu. Obulamu bwabwe bulongoose nnyo era bakimanyi nti ebiseera byabwe eby’omu maaso bijja kuba birungi nnyo. (Bak. 3:12) Adolfo, kati aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina mu Sipeyini, atubuulira ebikwata ku bulamu bwe nga tannayiga mazima.

Adolfo agamba nti: “Obulamu bwange tebwalina kigendererwa. Emirundi mingi nnalemererwanga okufuga obusungu bwange era n’abamu ku mikwano gyange baali bantya. Naye lumu ebintu tebyaŋŋendera bulungi. Nnalwana era okukkakkana nga nfumitiddwa ebiso. Nnavaamu omusaayi mungi ne mbulako katono okufa.”

Kati, Adolfo yayiga amazima era ayigiriza abalala okuba abakkakkamu. Abantu bangi bamwagala nnyo olw’okuba mukkakkamu. Adolfo agamba nti musanyufu nnyo olw’enkyukakyuka ze yakola. Era yeebaza nnyo Yakuwa olw’okumuyamba okuyiga okuba omukkakkamu.

Bwe tuba abakkakkamu tusanyusa Yakuwa. “Mwana wange beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange, ndyoke mbeere n’eky’okuddamu eri oyo ansoomooza.”​Nge. 27:11.

Sitaani, omulabe wa Katonda lukulwe, asoomooza Yakuwa. Katonda yandibadde n’ensonga entuufu emuleetera okusunguwala. Wadde kiri kityo, Bayibuli egamba nti Yakuwa “alwawo okusunguwala.” (Kuv. 34:6) Bwe tukoppa Katonda nga tulwawo okusunguwala era nga tuba bakkakkamu, tumusanyusa.​—Bef. 5:1.

Leero abantu bangi ‘beepanka, ba malala, bavvoola, bawaayiriza, tebeefuga, era bakambwe.’ (2 Tim. 3:2, 3) Wadde kiri kityo, ekyo tekisaanidde kuleetera Bakristaayo butaba bakkakkamu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: ‘Amagezi agava waggulu ga mirembe era si makakanyavu.’ (Yak. 3:17) Bwe tuba abantu ab’emirembe era abatali bakakanyavu kiba kiraga nti tulina amagezi agava eri Katonda. Amagezi ago gatuyamba okuba abakkakkamu nga tuyisiddwa bubi, era ekyo kituleetera okwongera okusemberera Yakuwa ensibuko y’amagezi.