Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okukola Enteekateeka Ennungi Kivaamu Ebibala

Okukola Enteekateeka Ennungi Kivaamu Ebibala

María Isabel mubuulizi munyiikivu nnyo. Omuwala ono omuto abeera mu kibuga San Bernardo eky’omu Chile, ensi esangibwa mu bukiikaddyo bw’Amerika. María Isabel awamu ne bazadde be ne muganda we omukulu boogera olulimi Olumapukye. Bonna mu maka babadde bakola butaweera okulaba nti ekibiina ky’Olumapukye oba Olumapudunguni kitandikibwawo.

Bwe kyalangirirwa nti omukolo gw’Ekijjukizo gwali gwa kukwatibwa ne mu lulimi Olumapudunguni era nti waaliwo obupapula 2,000 obuyita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo obwali mu lulimi olwo obwalina okugabibwa, María Isabel yatandika okulowooza ku ngeri gye yali ayinza okwenyigira mu kaweefube oyo. Yalowooza ku bavubuka Abajulirwa abatali bamu abaafuna ebibala bwe baasalawo okubuulira ku bayizi bannaabwe oba abasomesa baabwe. Yayogerako ne bazadde be ku nsonga eyo era ne bamugamba akole enteekateeka okugaba obupapula obwo ku ssomero. Nteekateeka ki ze yakola?

María Isabel yasooka kusaba abakulira essomero bamuwe olukusa okutimba akapapula akayita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo ku mulyango oguyingira mu ssomero. Baamuwa olukusa era ne bamutendereza nnyo olw’okuba omuyiiya. Lumu ku makya, omukulu w’essomero bwe yali ayogera eri abayizi, yalangirira ku muzindaalo ebikwata ku mukolo gw’Ekijjukizo!

Ate era, María Isabel yasaba abasomesa olukusa okugenda mu bibiina byonna anoonye abayizi aboogera Olumapukye. Agamba nti: “Nnali ndowooza nti mu ssomero lyonna mwalimu abayizi nga 10 oba 15 aboogera Olumapukye, naye baali bangi okusinga bwe nnali ndowooza. Nnasobola okugaba obupapula 150!”

“YALI ASUUBIRA KULABA MUNTU MUKULU”

Omukyala omu bwe yalaba akapapula akaali katimbiddwa ku mulyango oguyingira mu ssomero, yasaba bamulagirire omuntu ayinza okumubuulira ebisingawo ebikwata ku mukolo ogwo. Yeewuunya nnyo okulaba nga bamututte eri omuwala ow’emyaka ekkumi! María Isabel agamba nti: “Omukyala oyo yali asuubira kulaba muntu mukulu.” María Isabel yamuwa akapapula akamuyita ku mukolo gw’Ekijjukizo era n’amusaba endagiriro ye. Yali ayagala agende ne bazadde be bakyalire omukyala oyo bamubuulire ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Ababuulizi 20 ababuulira mu kitundu omuli abantu aboogera Olumapudunguni baasanyuka nnyo okulaba omukyala oyo awamu n’abantu abalala 26 aboogera Olumapukye nga bazze ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ekibiina ky’Olumapukye kikulaakulana ku sipiidi ya maanyi!

K’obe wa myaka emeka, naawe osobola okuyita bayizi banno oba bakozi banno ku mukolo gw’Ekijjukizo, oba okujja okuwuliriza emboozi ya bonna, oba okubaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Ebitabo byaffe birimu ebyokulabirako by’ab’oluganda bangi abakoze bwe batyo. Lwaki tosoma ku byokulabirako ebyo n’olaba engeri gy’oyinza okubakoppa? Ate era saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe gukuyambe okufuna obuvumu okubuulira abalala. (Luk. 11:13) Bw’onookola bw’otyo, naawe ojja kufuna ebibala ebiva mu kukola enteekateeka ennungi.