Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OSOBOLA OKUBEERA MUKWANO GWA KATONDA

Obulamu Obusingayo Okuba obw’Essanyu

Obulamu Obusingayo Okuba obw’Essanyu

Biki by’osaanidde okukola okusobola okubeera mukwano gwa Katonda? Tulabye ebintu bisatu era bye bino:

  1. Manya erinnya lya Katonda era olikozese.

  2. Wuliziganya naye buli lunaku ng’omusaba era ng’osoma Bayibuli.

  3. Bulijjo kola Yakuwa by’ayagala.

Okusobola okuba mukwano gwa Katonda, kozesa erinnya lye, musabe, soma Ekigambo kye, era kola ebimusanyusa

Okusinziira ku ebyo bye tulabye, okola byonna ebyetaagisa okusobola okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda? Waliwo we weetaaga okulongoosaamu? Kyo kituufu nti kyetaagisa okufuba, naye ojja kuganyulwa nnyo bw’onoofuba okubikola.

Jennifer abeera mu Amerika agamba nti: “Bw’ofuba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda okufuba kwo tekuba kwa bwereere kubanga kuvaamu emikisa mingi. Weeyongera okwesiga Katonda, n’okumanya engeri ze. N’ekisinga byonna, weeyongera okumwagala. Buno bwe bulamu obusingayo okuba obw’essanyu!”

Bw’oba oyagala okuba mukwano gwa Katonda, Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba. Basobola okukuyigiriza Bayibuli ku bwereere. Ate era bakwaniriza mu nkuŋŋaana zaabwe ezibeera ku Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa, gy’ojja okusanga abantu abaagala ennyo Katonda. * Bw’onookola bw’otyo, naawe ojja kuwulira ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Kirungi nze nsemberere Katonda.”Zabbuli 73:28.

^ lup. 9 Okusobola okufuna akuyigiriza Bayibuli oba okumanya ekifo ekikuli okumpi Abajulirwa ba Yakuwa we bakuŋŋaanira, buuza akuwadde akatabo kano oba genda ku mukutu gwaffe, www.mt711.com, ogw’Oluganda wansi w’omutwe, WULIZIGANYA NAFFE.