Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Jairo Aweereza Katonda ng’Akozesa Amaaso Ge

Jairo Aweereza Katonda ng’Akozesa Amaaso Ge

Kuba akafaananyi nga tosobola kukozesa bitundu bya mubiri gwo okuggyako amaaso go gokka. Eyo ye mbeera muganda wange Jairo gy’alimu. Wadde kiri kityo, obulamu bwe bwa makulu. Nga sinnannyonnyola nsonga lwaki obulamu bwe bwa makulu, ka nsooke njogere ku byafaayo bye.

Jairo yazaalibwa n’obulwadde bw’obwongo obuyitibwa spastic quadriplegia. * Olw’obulwadde obwo, tasobola kukozesa bitundu bye eby’omubiri ebisinga obungi. Oluusi emikono gye n’amagulu byeweta n’aba nga tasobola kubikuumira mu kifo kimu. Emirundi egimu, ekyo kimuviirako okwekoona n’alumizibwa. Oluusi ayinza n’okulumya abalala bwe baba bamusemberedde nnyo. Emirundi mingi emikono gye n’amagulu birina okusibibwa ku kagaali ke ak’abalema aleme kwerumya oba okulumya abalala.

AKULIRA MU BULUMI OBW’AMAANYI

Jairo akulidde mu bulumi bwa maanyi nnyo. Bwe yaweza emyezi esatu yatandika okugwa ensimbu era yazirikanga. Emirundi mingi, maama yamuddusanga mu ddwaliro ng’alowooza nti afudde.

Olw’okwesikasika ng’agudde ensimbu, amagumba ge gaagongobala. Bwe yaweza emyaka 16, eggumba lye ery’ekisambi lyawogoka era yalina okulongoosebwa. Nkyajjukira engeri Jairo gye yakaabangamu olw’obulumi oluvannyuma lw’okulongoosebwa.

Olw’okuba Jairo talina ky’asobola kwekolera, abalala baba balina okumuyamba mu buli kimu gamba ng’okumuliisa, okumwambaza, n’okumutwala mu buliri bwe. Maama ne taata be batera okumuyamba. Wadde nga Jairo yeetaaga okuyambibwa buli kiseera, bazadde baffe bulijjo bamujjukiza nti obulamu bwe tebwesigamye ku abo bokka abamuyamba wabula ne ku Katonda.

BAFUNA ENKOLA EBAYAMBA OKUMANYA BY’AYAGALA

Bazadde baffe Bajulirwa ba Yakuwa, era okuviira ddala nga Jairo akyali muto babadde bamusomera Bayibuli. Bakimanyi nti obulamu buba bwa makulu singa omuntu aba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Wadde ng’embeera ya Jairo yali yeeyongera kwonooneka, yali asobola okuba n’essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso. Naye beebuuzanga oba Jairo asobola okutegeera ebyo ebiri mu Bayibuli.

Jairo bwe yali akyali muto, lumu taata yamugamba nti, “Jairo, osobola okwogerako nange?” Era yagattako nti, “Bw’oba ddala onjagala yogerako nange!” Nga taata akyamwegayirira ayogere waakiri ekigambo kimu kyokka, Jairo yatandika okukulukusa amaziga. Wadde nga yagezaako okubaako ebigambo by’ayatula, yalemererwa. Taata yawulira bubi olw’okuba yali amuleetedde okukaaba. Naye ekyo kyalaga nti Jairo yali ategedde ekyo taata kye yali amugambye. Ekizibu kyali nti yali tasobola kwogera.

Oluvannyuma lw’ekiseera, bazadde baffe baakizuula nti Jairo bwe yatambuzanga amaaso ku sipiidi yabanga alina ky’ayagala okubategeeza. Kyamunakuwazanga nnyo okulaba nti ebiseera ebimu yabanga tasobola kutegeeza balala by’ayagala. Naye oluvannyuma, bazadde baffe bwe baatunuuliranga amaaso ge baabanga basobola okutegeera ky’ayagala, era bwe baakimuwanga, amaaso ge gajjulanga essanyu. Eyo ye ngeri gye yabeebazangamu.

Omusawo omu yatugamba nti okusobola okutegeera ky’ayagala, kirungi okuwanika emikono gyombi, ng’omukono ogwa ddyo gutegeeza yee ate ng’ogwa kkono gutegeeza nedda. Mu ngeri eyo, twandisobodde okutegeera ky’ayagala nga tusinziira ku mukono gw’aba atunuddeko.

ASALAWO EKINTU EKIKULU MU BULAMU BWE

Abajulirwa ba Yakuwa baba n’enkuŋŋaana ennene ssatu buli mwaka era zibaako okwogera okutali kumu okwesigamiziddwa ku Bayibuli. Okwogera okukwata ku kubatizibwa bwe kwabanga kuweebwa, Jairo yasanyukanga nnyo. Jairo bwe yaweza emyaka 16, lumu taata yamubuuza nti, “Jairo, oyagala okubatizibwa?” Yatunula ku mukono gwa taata ogwa ddyo n’akiraga nti ayagala okubatizibwa. Taata era yamubuuza nti, “Osabye Katonda ng’omusuubiza okumuweereza emirembe gyonna?” Era Jairo yaddamu n’atunuula ku mukono gwa taata ogwa ddyo. Ekyo kyali kiraga nti Jairo yali amaze okwewaayo eri Yakuwa.

Oluvannyuma lw’okukubaganya naye ebirowoozo ku Bayibuli enfunda eziwera, kyeyoleka kaati nti Jairo yali ategedde ensonga lwaki Omukristaayo asaanidde okubatizibwa. Mu 2004, yaddamu ekibuuzo ekikulu ennyo ekyamubuuzibwa, “Weewaddeyo eri Katonda okukola by’ayagala?” Jairo yaddamu ekibuuzo ekyo ng’atunula waggulu. Eyo ye ngeri gye yali asazeewo okuddamu nti yee. Bw’atyo, ku myaka 17 yabatizibwa n’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

AMAASO GE GEEMALIDDE KU KUWEEREZA KATONDA

Mu 2011, Jairo yatandika okukozesa kompyuta ekolera ku maaso ge okwogera n’abantu abalala. Bw’atunuulira kompyuta eyo n’atambuza amaaso ge, ereeta obubonero, nga buli kabonero kalina kye kategeeza. Bw’atunuulira akamu ku bubonero obwo n’atemya, kompyuta ekyusa obubaka obuli mu kabonero ako ne bufuuka amaloboozi.

Jairo gye yakoma okutegeera ebyo ebiri mu Bayibuli, gye yakoma n’okwagala okuyamba abantu abalala okubitegeera. Buli wiiki bwe tuba tuyiga Bayibuli ng’amaka, atera okuntunuulira ate n’atunuulira kompyuta ye. Ekyo bw’akikola enfunda n’enfunda, nga mmanya nti ayagala mpadiike ebyo by’anaddamu nga tukubaganya ebirowoozo mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo.

Bwe tuba mu nkuŋŋaana ezo ne bamulonda okubaako ky’addamu, atunuulira kompyuta ye n’anoonya mpolampola akabonero akalimu ekyo ky’aba yateeseteese okuddamu, era bw’akatunuulira kompyuta efulumya eddoboozi buli omu n’awulira. Buli lw’abaako ky’addamu azzaamu abalala amaanyi era ekyo kimusanyusa nnyo. Alex, omu ku mikwano gya Jairo agamba nti, “Kinsanyusa nnyo buli lwe mpulira nga Jairo alina ky’azzeemu nga tukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli.”

Jairo akozesa kompyuta ekolera ku maaso ge okubaako by’addamu mu nkuŋŋaana n’okubuulirako abalala ebikwata ku Katonda

Ate era Jairo akozesa maaso ge okubuulira abalala ebikwata ku Katonda. Emu ku ngeri gy’akikolamu kwe kutunula ku kabonero akali ku kompyuta ye akaliko ekifaananyi ky’olusuku lwa Katonda. Bw’akikola, kompyuta efulumya eddoboozi erigamba nti, “Bayibuli esuubiza nti ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda era tejja kubaamu bulwadde na kufa, Okubikkulirwa 21:4.” Oyo gw’aba abuulira bw’asiima obubaka obwo, Jairo atunula ku kabonero akalala akavaamu eddoboozi erigamba nti, “Wandyagadde nkuyigirize ebiri mu Bayibuli?” Kyewuunyisa nti omu ku bajjajja baffe yakkiriza Jairo amuyigirize Bayibuli. Kisanyusa nnyo okulaba engeri Jairo gy’ayigirizaamu jjajja ng’ayambibwako Omujulirwa wa Yakuwa omulala! Kyatusanyusa nnyo jjajja oyo bwe yabatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwali mu kibuga Madrid mu Agusito 2014.

Abasomesa ba Jairo ku ssomero bakwatibwako nnyo olw’engeri gy’ayagalamu Katonda. Omu ku basomesa be ayitibwa Rosario yagamba nti: “Bwe ndiba wa kuyingira ddiini yonna, ndifuuka Mujulirwa wa Yakuwa. Ndabye engeri okukkiriza kwa Jairo gye kumuyambye okuba n’obulamu obw’amakulu wadde ng’embeera gy’alimu si nnungi.”

Amaaso ga Jairo gajjula essanyu buli lwe mmusomera ekisuubizo kino ekiri mu Bayibuli: ‘Awenyera alibuuka ng’ennaangaazi, n’olulimi [lw’oyo atasobola kwogera] luliyimba.’ (Isaaya 35:6) Wadde ng’oluusi atera okwennyamira, ebiseera ebisinga abeera musanyufu olw’okuba yeemalidde ku kuweereza Katonda n’okubeerako awamu ne mikwano gye Abajulirwa ba Yakuwa. Essanyu n’okukkiriza okw’amaanyi by’alina bukakafu obulaga nti okuweereza Yakuwa kisobozesa omuntu okuba n’obulamu obw’amakulu ne bw’aba mu mbeera enzibu ennyo.

^ lup. 5 Obulwadde buno bwe bulwadde bw’obwongo obusingayo okuba obw’omutawaana. Buviirako omuntu okugwa ensimbu, amagulu n’emikono okukakanyala, ensingo okulebera, n’obutayogera bulungi.