Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ABEEBAGAZI B’EMBALAASI ABANA—ENGERI GYE BAKUKWATAKO

Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?

Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?

Abeebagazi b’embalaasi abana bayinza okulabika ng’abatiisa, naye tosaanidde kubatya. Lwaki? Kubanga Bayibuli awamu n’ebintu ebiriwo mu nsi leero bituyamba okubategeera. Wadde nga bakiikirira ebizibu ebiriwo mu nsi, ojja kuganyulwa bw’onootegeera ebibakwatako. Naye ka tusooke tutegeere abeebagazi b’embalaasi abo abana.

OYO ATUDDE KU MBALAASI ENJERU

Okwolesebwa okwo kutandika bwe kuti: “Ne ndaba era laba! embalaasi enjeru; eyali agituddeko yalina omutego gw’akasaale; n’aweebwa engule, n’agenda ng’awangula asobole okumaliriza okuwangula kwe.”Okubikkulirwa 6:2.

Oyo eyali atudde ku mbalaasi enjeru y’ani? Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, ayitibwa “Kigambo kya Katonda.” (Okubikkulirwa 19:11-13) Ekitiibwa ekyo kyaweebwa Yesu Kristo, kubanga akola ng’omwogezi wa Katonda. (Yokaana 1:1, 14) Ate era Yesu ayitibwa “Kabaka wa bakabaka, era Mukama wa bakama.” Okugatta ku ekyo, ayitibwa “Mwesigwa era wa Mazima.” (Okubikkulirwa 19:11, 16) Yesu yaweebwa obuyinza okulwana olutalo, naye obuyinza bwe tabukozesa bubi.

Ani yawa Yesu obuyinza okulwana olutalo olwo? (Okubikkulirwa 6:2) Nnabbi Danyeri yafuna okwolesebwa mwe yalabira “omwana w’omuntu,” ng’ono ye Masiya oba Kristo, ng’aweebwa “obufuzi, n’ekitiibwa, n’obwakabaka.” Eyamuwa obuyinza obwo si mulala, wabula Yakuwa * Katonda “abaddewo okuva edda n’edda.” (Danyeri 7:13, 14) Mu Byawandiikibwa, langi enjeru ekiikirira obutuukirivu. N’olwekyo, embalaasi enjeru ekiikirira olutalo Omwana wa Katonda lw’alwana mu bwenkanya.Okubikkulirwa 3:4; 7:9, 13, 14.

Abeebagazi b’embalaasi abo baatandika ddi okutabaala? Weetegereze nti asooka, Yesu Kristo, yatuula ku mbalaasi oluvannyuma lw’okuweebwa engule. (Okubikkulirwa 6:2) Yesu yafuulibwa ddi Kabaka mu ggulu? Ekyo tekyaliwo nga yaakaddayo mu ggulu. Bayibuli eraga nti yalina okulindirira okumala ekiseera. (Abebbulaniya 10:12, 13) Yesu yabuulira abagoberezi be engeri gye banditegedde nti ekiseera ekyo kiweddeko era nti atandise okufuga mu ggulu. Yagamba nti bwe yanditandise okufuga, embeera ku nsi yandyonoonese nnyo. Wandibaddewo entalo, enjala, n’endwadde. (Matayo 24:3, 7; Lukka 21:10, 11) Ssematalo eyasooka bwe yatandika mu mwaka gwa 1914, kyeyoleka kaati nti ekiseera ekyo Bayibuli ky’eyita “ennaku ez’enkomerero” kyali kitandise.2 Timoseewo 3:1-5.

Naye lwaki embeera mu nsi yeeyongedde okwonooneka, ate nga Yesu yatandika okufuga mu 1914? Kubanga mu kiseera ekyo Yesu yatandika okufuga mu ggulu, so si ku nsi. Mu kiseera ekyo olutalo lwabalukawo mu ggulu, Yesu, nga ye Mikayiri, n’awangula Sitaani ne badayimooni be n’abasuula ku nsi. (Okubikkulirwa 12:7-9, 12) Sitaani alina obusungu bungi kubanga akimanyi nti asigazza akaseera katono. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuzikiriza Sitaani. (Matayo 6:10) Kati ka tulabe engeri abeebagazi b’embalaasi abalala abasatu gye batuyambamu okukakasa nti ddala tuli mu “nnaku ez’enkomerero.” Obutafaananako omwebagazi w’embalaasi asooka akiikirira omuntu yennyini, abeebagazi b’embalasi abasatu abaddirira bakiikirira embeera enzibu ezizze zibaawo ku nsi.

OYO ATUDDE KU MBALAASI EMMYUFU

“Ne wavaayo embalaasi endala emmyufu; era oyo eyali agituddeko n’aweebwa obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi abantu battiŋŋane; era yaweebwa n’ekitala ekinene.”Okubikkulirwa 6:4.

Omwebagazi w’embalaasi ono akiikirira entalo. Weetegereze nti aggyawo emirembe ku nsi yonna. Ssematalo eyasookera ddala mu byafaayo yabalukawo mu 1914. Oluvannyuma lw’emyaka mitono, waabalukawo ssematalo ow’okubiri, era abantu abaafiira mu ssematalo oyo baali bangi okusinga abaafiira mu ssematalo eyasooka. Kigambibwa nti abantu abasukka mu bukadde 100 be bafiiridde mu ntalo okuva mu 1914. Ate abantu abafuna ebisago eby’amaanyi nabo bangi ddala.

Entalo zitadde zitya obulamu bw’abantu mu kabi mu kiseera kino? Kirabika nti kati abantu balina obusobozi bw’okusaanyaawo abantu bonna abali ku nsi. N’ebibiina ebyassibwawo okukuuma emirembe, gamba ng’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, tebisobodde kuziyiza mwebagazi w’embalaasi emmyufu.

OYO ATUDDE KU MBALAASI ENZIRUGAVU

“Ne ndaba era laba! embalaasi enzirugavu; era oyo eyali agituddeko yalina minzaani mu mukono gwe. Ne mpulira eddoboozi nga liringa eryogerera wakati w’ebiramu ebina nga ligamba nti: ‘Kilo emu ey’eŋŋaano ya ddinaali emu, ne kilo ssatu eza ssayiri za ddinaali emu; amafuta g’ezzeyituuni n’omwenge tobyonoona.’”Okubikkulirwa 6:5, 6.

Omwebagazi w’embalaasi eno akiikirira enjala. Mu kwolesebwa kuno tulaba nti emmere yandibadde ya bbula nnyo, ne kiba nti kilo emu ey’eŋŋaano egula ddinaali emu. Mu kyasa ekyasooka, omuntu yakoleranga ddinaali emu olunaku lulamba. (Matayo 20:2) Ssente ezo era zaali zisobola okugula kilo ssatu eza ssayiri, emmere eyali teyagalibwa nnyo ng’eŋŋaano. Kati teeberezaamu ng’amaka galimu abantu bangi. Bandisoboddenga batya okufuna emmere ebamala? Abantu baagambibwa n’okukekkereza ebintu bye baakozesanga bulijjo, gamba ng’amafuta g’ezzeyituuni n’omwenge.

Okuva mu 1914, wabaddewo obukakafu bwonna obulaga nti omwebagazi w’embalaasi enzirugavu waali? Yee! Abantu obukadde nga 70 be baafa enjala mu kyasa eky’amakumi abiri. Lipoota y’ekitongole ekimu eraga nti “abantu obukadde 805—omuntu omu ku buli bantu mwenda abali ku nsi—baakoozimba olw’endya embi mu 2012-2014.” Ate lipoota endala eraga nti, “enjala etta abantu bangi buli mwaka okusinga abafa siriimu, omusujja gw’ensiri, n’akafuba, ng’obagasse wamu.” Wadde nga wabaddewo okufuba kwa maanyi okufunira abantu emmere ebamala, omwebagazi w’embalaasi enzirugavu akyeriisa enkuuli.

OYO ATUDDE KU MBALAASI ENSIIWUUFU

“Ne ndaba era laba! embalaasi ensiiwuufu; oyo eyali agituddeko yali ayitibwa Kufa. Era amagombe gaali gamuvaako emabega. Ne biweebwa obuyinza ku kitundu eky’okuna eky’ensi, okutta n’ekitala ekiwanvu, n’enjala, n’endwadde ez’amaanyi, era n’ensolo ez’omu nsiko.”Okubikkulirwa 6:8.

Omwebagazi w’embalaasi ey’okuna akiikirira okufa okuleetebwa endwadde ez’amaanyi n’ebintu ebirala. Amangu ddala nga ssematalo eyasooka yaakaggwa, waabalukawo obulwadde obw’omutawaana obuyitibwa Spanish flu. Obulwadde obwo bwakwata abantu ng’obukadde 500; kumpi omuntu omu ku buli bantu basatu abaaliwo mu kiseera ekyo!

Ng’oggyeeko obulwadde obwo, wabaddewo n’endwadde endala ez’amaanyi. Abakugu bagamba nti obulwadde bwa kawaali bwatta abantu bukadde na bukadde mu kyasa eky’amakumi abiri. N’okutuusa leero, abantu bangi bafa siriimu, akafuba, omusujja gw’ensiri, n’endwadde endala wadde nga wabaddewo okukulaakulana kwa maanyi mu by’obujjanjabi.

Wadde ng’abantu bangi bafa olw’entalo, enjala, endwadde, n’ebintu ebirala, amagombe tegakkuta.

EBISEERA EBY’OMU MAASO BIJJA KUBA BIRUNGI

Ebiseera ebizibu bino bye tulimu binaatera okukoma. Kijjukire nti Yesu yatandika “okuwangula” mu 1914 bwe yasuula Sitaani ku nsi, naye mu kiseera ekyo Yesu teyamaliriza kuwangula kwe. (Okubikkulirwa 6:2; 12:9, 12) Mu kiseera ekitali kya wala, ku lutalo Amagedoni, Yesu ajja kuggyawo embeera embi eziriwo Sitaani ze yaleeta era azikirize abantu abakola ebintu ebibi. (Okubikkulirwa 20:1-3) Yesu tajja kukoma ku kuggyawo beebagazi b’embalaasi bali abasatu, naye era ajja kuggyawo n’ebizibu bye baleese. Ekyo anaakikola atya? Ka tulabe Bayibuli ky’egamba.

Mu kifo ky’entalo, wajja kubaawo emirembe mu nsi yonna. Bayibuli egamba nti Yakuwa Katonda ‘ajja kumalawo entalo mu nsi yonna. Ajja kumenya emitego gy’obusaale era amenyeemenye amafumu.’ (Zabbuli 46:9) Abantu abaagala emirembe “baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”Zabbuli 37:11.

Abantu tebajja kulumwa njala kubanga “wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.”Zabbuli 72:16.

Yesu anaatera okuggyawo ebizibu abeebagazi b’embalaasi abalala abasatu bye baleeseewo

Ate era tewajja kubaawo ndwadde na kufa. Abantu bonna bajja kuba balamu bulungi. Bayibuli egamba nti Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”Okubikkulirwa 21:4.

Yesu bwe yali ku nsi, yalaga abantu ensi bw’eribeera nga y’agifuga. Yayigiriza abantu okuba ab’emirembe, yakola ebyamagero n’aliisa abantu nkumi na nkumi, yawonya abalwadde, era yazuukiza n’abafu.Matayo 12:15; 14:19-21; 26:52; Yokaana 11:43, 44.

Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukulaga by’osaanidde okukola okusobola okubeerawo ku nsi ng’ebizibu byonna biweddewo. Basobola okukuyigiriza Bayibuli ku bwereere.

^ lup. 7 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.