Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUKENDEEZA KU KWERALIIKIRIRA

Okwaŋŋanga Ebitweraliikiriza

Okwaŋŋanga Ebitweraliikiriza

Okusobola okwaŋŋanga okweraliikirira, olina okulowooza ku bulamu bwo, ku ngeri gy’okolaganamu n’abalala, ku biruubirirwa byo, ne ku ebyo by’okulembeza mu bulamu oba by’otwala ng’ebikulu. Ekitundu kino kigenda kulaga ebyo by’oyinza okukola okusobola okwaŋŋanga okweraliikirira oba okukukendeeza.

Teweeraliikirira bya Nkya

“Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’ebyeraliikiriza ebyalwo.”​—MATAYO 6:34.

Amakulu: Buli lunaku luba n’ebintu byalwo ebyeraliikiriza. Toyongera ku kweraliikirira kw’olunaku lwa leero ng’okugattako okw’enkya. Fuba okusa ebirowoozo ku by’olunaku lwa leero.

  • Okweraliikirira kuleetera omutima okukwewanika. N’olwekyo gezaako bino: Ekisooka, kimanye nti tetusobola kwewalira ddala kweraliikirira. Bw’odda awo okweraliikirira ebintu by’otosobola kukyusa, kikwongerako bwongezi kweraliikirira. Eky’okubiri, kimanye nti emirundi mingi ebintu tebiba bibi nga bwe twali tusuubira.

Tosuubira Bitasoboka

“Amagezi agava waggulu . . . si makakanyavu.”​—YAKOBO 3:17.

Amakulu: Teweerondalonda. Teweesuubiramu kisukka ku busobozi bwo era n’abalala tobasuubiramu kisukkiridde.

  • Ba mwetoowaze, tosuubira bitasoboka, era manya obusobozi bwo n’obw’abalala we bukoma. Bw’okola bw’otyo, kijja kukendeeza ku kweraliikirira kw’olina awamu n’okw’abalala era mujja kuvaamu ebirungi. Ate era saagako. Bw’osekako, oluusi ebintu ne bwe biba tebigenze bulungi, kikukkakkanya.

Manya Ebikuviirako Okweraliikirira

‘Omuntu omutegeevu asigala mukkakkamu.’​—ENGERO 17:27.

Amakulu: Enneewulira ezitali nnungi zisobola okukuleetera obutalowooza bulungi, n’olwekyo fuba okusigala ng’oli mukkakkamu.

  • Manya ebikuviirako okweraliikirira n’engeri gye weeyisaamu nga weeraliikirira. Ng’ekyokulabirako, bw’owulira nga weeraliikiridde, weetegereze biki ebikujjira mu birowoozo, engeri gye weewuliramu, n’engeri gye weeyisaamu, era oboolyawo obeeko w’obiwandiika. Bw’omanya engeri gye weeyisaamu nga weeraliikiridde, kisobola okukuyamba okukwaŋŋanga. Ate era lowooza ku ngeri gy’oyinza okwewalamu ebintu ebimu ebikuleetera okweraliikirira. Ekyo bwe kiba tekisoboka, lowooza ku ngeri gy’oyinza okukendeeza ku kweraliikirira okwo, oboolyawo ng’onoonya engeri esingayo obulungi ey’okukolamu ebintu ebyo oba ng’ofuba okubikolera mu budde.

  • Gezaako okutunuulira ebintu mu ngeri endala. Ebintu ebikweraliikiriza biyinza okuba ng’omulala tebimweraliikiriza. Enjawulo eyinza okuba mu ngeri gye mutunuuliramu ebintu. Lowooza ku magezi gano ga mirundi esatu:

    1. Toyanguwa kulowooza nti abalala balina ebigendererwa ebibi. Ng’ekyokulabirako, watya singa muba mu lunyiriri omuntu n’akuyisa? Bw’olowooza nti ekyo akikoze lwa kuba nti talina buntu bulamu, kiyinza okukunyiiza. Mu kifo ky’ekyo, osobola okukitwala nti tabadde na kigendererwa kibi. Era oyinza okuba omutuufu!

    2. Buli mbeera gy’obaamu, ginoonyeemu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, bw’omala ekiseera ng’olinda omusawo okukukolako oba ng’olinda ennyonyi, ekiseera ekyo oyinza okukikozesa obulungi ng’obaako by’osoma oba by’omaliriza ku kompyuta yo.

    3. Weetegereze byonna ebizingirwamu. Weebuuze, ‘Ensonga eno eneeba ekyali nkulu enkya oba wiiki ejja?’ Manya enjawulo wakati w’ebintu ebikulu ennyo n’ebitali bikulu nnyo.

Fuba Okuba n’Enteekateeka Ennungi

“Ebintu byonna bikolebwe mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.”​—1 ABAKKOLINSO 14:40.

Amakulu: Fuba okuba n’enteekateeka ennungi mu bulamu bwo.

  • Kituganyula nnyo bwe tuba n’enteekateeka ennungi. Ekimu ku bintu ebisobola okutulemesa okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi bwe butakolera bintu mu budde, era ekyo kiyinza okututuumako emirimu. Gezaako okukolera ku magezi gano wammanga.

    1. Kola entegeka era oginywerereko.

    2. Manya ebintu ebikulemesa okukolera ebintu mu budde era ofube okubikolako.

Togwa Lubege

“Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.”​—OMUBUULIZI 4:6.

Amakulu: Abantu abakola awatali kuwummula, tebaganyulwa mu mirimu gyabwe. Bayinza obutafuna biseera oba maanyi kunyumirwa ebyo bye baba bateganidde.

  • Ba n’endowooza ennuŋŋamu ku kukola ne ku ssente. Omuntu okuba ne ssente ennyingi tekitegeeza nti alina essanyu oba nti teyeeraliikirira. Omubuulizi 5:12 wagamba nti: “Ebintu ebingi omugagga by’aba nabyo tebimuganya kwebaka.” N’olwekyo, weewale okusaasaanya ekisukka ku ssente z’olina.

  • Funayo akadde okuwummula. Okukola ebintu ebikunyumira kisobola okukuyamba okukendeeza ku kweraliikirira. Kyokka okwesanyusaamu kw’oteenyigiramu butereevu, gamba ng’okutuula awo n’olaba ttivi, kuyinza obutakuyamba.

  • Kozesa bulungi tekinologiya. Weewale okuba nga buli kiseera okebera ssimu yo oba kompyuta yo okulaba obubaka obukuweerezeddwa oba ebyo ebiri ku mikutu emigattabantu. Okuggyako nga kyetaagisa, weewale okebera obubaka obukwatagana n’omulimu gwo mu biseera ebitali bya kukola.

Faayo ku Bulamu Bwo

“Okutendeka omubiri kugasa.”​—1 TIMOSEEWO 4:8.

Amakulu: Okukola dduyiro obutayosa kikuyamba okuba omulamu obulungi.

  • Weemanyiize okukola ebintu ebiganyula omubiri gwo. Okukola dduyiro kisobola okukuleetera okuwulira obulungi era kisobola okukendeeza ku kweraliikirira kw’oba olina. Lya emmere erimu ekiriisa era weewale obutaliira mmere mu kiseera ekituufu. Fuba okuwummula ekimala.

  • Weewale okugezaako okugonjoola ebizibu ng’okozesa enkola enkyamu, gamba ng’okunywa ssigala, okukozesa ebiragalalagala, oba okwekamirira omwenge. Ebintu ebyo bikwongerako bwongezi kweraliikirira kubanga bikuleetera endwadde era bikutwalira ssente.

  • Okweraliikirira bwe kuba nga kweyongera bweyongezi, laba omusawo. Tekisaanidde kukukwasa nsonyi kulaba musawo.

Manya by’Osaanidde Okukulembeza

‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’​—ABAFIRIPI 1:10.

Amakulu: Manya ebintu by’osaanidde okukulembeza.

  • Wandiika olukalala lw’ebintu by’olina okukola ng’obisengeka okusinziira ku bukulu bwabyo. Ekyo kijja kukuyamba okusooka okukola ebintu ebisinga obukulu, okumanya ebiteetaaga kukolebwa mu bwangu, by’osobobola okuwa abalala okukuyambako, oba ne by’oteetaaga kukola.

  • Okumala wiiki emu, weetegereze engeri gy’okozesaamu ebiseera byo. Oluvannyuma lowooza ku ngeri esingayo obulungi gy’oyinza okubikozesaamu. Bw’okozesa obulungi ebiseera byo, kikuyamba okukendeeza ku kweraliikirira.

  • Funangayo akadde okuwummulamu. N’okuwummulamu akatono kisobola okukuzzaamu endasi ne kikendeeza ku kweraliikirira kw’oba nakwo.

Funa Obuyambi

“Okweraliikirira okuba mu mutima gw’omuntu kugwennyamiza, naye ebigambo ebirungi biguleetera okusanyuka.”​—ENGERO 12:25.

Amakulu: Ebigambo eby’ekisa abalala bye bakugamba bisobola okukuleetera okuwulira obulungi.

  • Yogerako n’omuntu akutegeera. Omuntu oyo ayinza okukuyamba okutunuulira ebintu mu ngeri endala oba okumanya engeri y’okugonjoolamu ekizibu, oboolyawo gye wali obuusizza amaaso. Okwetikkulako omugugu ogwo kisobola okukuleetera okuwulira obulungi.

  • Funa obuyambi. Osobola okusaba abalala bakuyambeko mu kukola omulimu ogumu?

  • Singa waliwo mukozi munno akumalako emirembe, fuba okunoonya engeri y’okutereezaamu embeera eyo. Ng’ekyokulabirako, mu ngeri ey’amagezi, osobola okumubuulira engeri gy’owuliramu? (Engero 17:27) Ekyo bwe kitagonjoola nsonga, osobola okukendeeza ku budde bw’omala naye?

Faayo ku Nkolagana Yo ne Katonda

“Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”​—MATAYO 5:3.

Amakulu: Ng’oggyeeko okuba nti twetaaga emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula, abantu twatondebwa nga twetaaga okuba n’enkolagana ne Katonda. Okusobola okuba abasanyufu, tulina okufuba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.

  • Okusaba kusobola okutuyamba. Katonda akugamba ‘okumukwasa byonna ebikweraliikiriza kubanga akufaako.’ (1 Peetero 5:7) Okusaba n’okufumiitiriza ku bintu ebizimba kisobola okutuyamba okufuna emirembe mu mutima.​—Abafiripi 4:6, 7.

  • Soma ebintu ebinaakuyamba okusemberera Katonda. Amagezi agaweereddwa mu magazini eno gaggiddwa mu Bayibuli, era Bayibuli yawandiikibwa okutuyamba okusemberera Katonda. Ebiri mu Bayibuli bituyamba okufuna “amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi.” (Engero 3:21) Lwaki teweeteerawo kiruubirirwa kya kusoma Bayibuli? Osobola n’okutandikira ku kitabo ky’Engero.