Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kola Emikwano N’abantu Ab’enjawulo

Kola Emikwano N’abantu Ab’enjawulo

Obuzibu

Bwe tweyawula ku bantu be tulinako endowooza etali nnungi, kiyinza okutuleetera okweyongera okuba abasosoze. Ate bwe tuba ng’abo be tufuula mikwano gyaffe b’ebo bokka be tulina bye tufaanaganya, tuyinza okutandika okulowooza nti engeri gye tulowoozaamu n’engeri gye tukolamu ebintu ye yokka entuufu.

Amagezi Okuva mu Bayibuli

“Mugaziwe mu mitima gyammwe.”​—2 ABAKKOLINSO 6:13.

Kitegeeza ki? “Omutima” gwaffe gusobola okutegeeza enneewulira yaffe ne bye twagala. Bwe tuba nga twagala abo bokka be tulina bye tufaanaganya, omutima gwaffe guba gufunze. Okusobola okwewala ekyo okubaawo, tulina okuba abeetegefu okukola emikwano ne mu bantu ab’enjawulo ku ffe.

Emiganyulo Egiri mu Kukola Emikwano mu Bantu ab’Enjawulo

Bwe tumanya obulungi abalala, tutandika okutegeera ensonga lwaki bakola ebintu mu ngeri ey’enjawulo ku yaffe. Bwe tutandika okubaagala, tulekera awo okulaba enjawulo eriwo wakati waabwe naffe. Tweyongera okubaagala n’okubalumirirwa.

Lowooza ku Nazaré eyasosolanga abagwiri. Alaga ekyamuyamba okweggyamu obusosoze. Agamba nti: “Nnabeerako wamu nabo era ne nkolerako wamu nabo. Nnakiraba nti abantu abo baawukanira ddala ku ebyo abantu mu kitundu bye baboogerako. Bw’okola emikwano n’abantu ab’obuwangwa obw’enjawulo, okiraba nti bonna si be bamu era obatunuulira kinnoomu.”

Ky’Oyinza Okukola

Noonya akakisa okwogerako n’abantu abava mu nsi endala, ab’eggwanga eddala, oba aboogera olulimi olw’enjawulo ku lulwo. Oyinza

  • Okubasaba bakubuulire ebitonotono ebibakwatako.

  • Okubayita baliireko wamu naawe eky’okulya.

  • Okuwuliriza bye bakunyumiza, omanye bye batwala nti bikulu.

Bw’omanya engeri bye bayiseemu gye bikutte ku ngeri gye beeyisaamu, osobola okufuna endowooza ennungi ku bo ne ku bantu abalala ab’eggwanga lyabwe.