Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 2

Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne

Buli Omu Abe Mwesigwa eri Munne

“Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulangamu.” —Makko 10:9

Yakuwa Katonda ayagala nnyo abantu “abeesigwa.” (Zabbuli 101:6) Okuba abeesigwa kikulu nnyo kubanga kireetera abafumbo okwagalana n’okwesigaŋŋana.

Leero, abafumbo bangi si beesigwa eri bannaabwe. Okusobola okukuuma obufumbo bwammwe, mulina okukola ebintu bibiri.

1 OBUFUMBO BWAMMWE MUBUTWALE NGA BWA MUWENDO

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’ (Abafiripi 1:10) Obufumbo bwammwe kye kimu ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu bwammwe. Musaanidde okubutwala nga bwa muwendo nnyo.

Yakuwa ayagala mufeeyo nnyo ku bufumbo bwammwe era ayagala mubeere ‘basanyufu.’ (Omubuulizi 9:9) Tayagala osuulirire munno, wabula ayagala buli omu afube okukola ebisanyusa munne. (1 Abakkolinso 10:24) Munno asaanidde okukiraba nti omwagala nnyo, era nti osiima by’akola.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Fuba okulaba nti ofissaawo akadde okubeerako ne munno, era muwulirize bulungi bw’aba alina ky’akugamba

  • Buli ky’oba ogenda okusalawo, lowooza ku munno; teweerowoozaako wekka

2 KUUMANGA OMUTIMA GWO

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:28) Omuntu bw’aba nga buli kiseera alowooza ku bintu eby’obugwenyufu, kiyinza okulaga nti si mwesigwa eri munne mu bufumbo.

Yakuwa agamba nti olina ‘okukuuma omutima gwo.’ (Engero 4:23; Yeremiya 17:9) Ekyo okusobola okukikola, olina okwegendereza by’olaba. (Matayo 5:29, 30) Beera nga Yobu omuweereza wa Katonda eyakola endagaano n’amaaso ge obutatunuulira mukazi n’amwegomba. (Yobu 31:1) Weewalire ddala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, era weewale enkolagana yonna eyinza okukuviirako okwenda.

BY’OYINZA OKUKOLA:

  • Leka abalala bakimanye nti oyagala nnyo munno mu bufumbo

  • Faayo ku nneewulira ya munno, era bw’oba ng’olina enkolagana n’omuntu omulala eyinza okutabangula obufumbo bwammwe, gikomye amangu ddala