Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Sitaani y’ani oba kye ki?

WANDIZZEEMU NTI Sitaani . . .

  • Kitonde kya mwoyo?

  • Kye kibi ekiba mu muntu?

  • Kye kirowoozo ekibi ekiba mu mutima gw’omuntu?

BAYIBULI KY’EGAMBA

Sitaani yayogera ne Yesu era ‘yamukema.’ (Matayo 4:1-4) N’olwekyo, Sitaani si kirowoozo bulowoozo ekibi ekiba mu mutima gw’omuntu wabula kitonde eky’omwoyo ekibi.

BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?

  • Mu kusooka Sitaani yali malayika mulungi naye “teyanywerera mu mazima.” (Yokaana 8:44) Yafuuka mulimba era n’ajeemera Katonda.

  • Waaliwo bamalayika abeegatta ku Sitaani.​—Okubikkulirwa 12:9.

  • Sitaani abuzaabuzizza abantu bangi n’abaleetera n’okulowooza nti taliiyo.​—2 Abakkolinso 4:4.

Sitaani alina obuyinza ku bantu?

ABAMU BAGAMBA NTI tekisoboka Sitaani okuba n’obuyinza ku bantu, kyokka abalala batya nnyo dayimooni. Ggwe olowooza otya?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) Sitaani alina obuyinza bungi, naye si ku bantu bonna.

BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?

  • Sitaani akozesa obulimba okusobola okubuzaabuza abantu.​—2 Abakkolinso 11:14.

  • Dayimooni oluusi zibonyaabonya abantu.​—Matayo 12:22.

  • Katonda asobola okukuyamba n’osobola ‘okuziyiza’ Omulyolyomi.​—Yokaana 4:7.