Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI YESU YABONAABONA ERA N’AFA?

Naye Ddala Byaliyo?

Naye Ddala Byaliyo?

Mu mwaka gwa 33 E.E., * Yesu Omunazaaleesi yattibwa. Baamusibako omusango ogw’okulya mu nsi ye olukwe, baamukuba nnyo era ne baamukomerera ku muti. Yafiira mu bulumi obw’amaanyi naye Katonda n’amuzuukiza, era oluvannyuma lw’ennaku 40 n’agenda mu ggulu.

Ebigambo ebyo bisangibwa mu bitabo by’Enjiri ebina ebisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani abamu bye bayita Endagaano Empya. Naye ddala ebintu ebyo byaliyo? Ekibuuzo ekyo kikulu nnyo kubanga bwe biba nga tebyaliyo ebyo Abakristaayo bye bakkiriza tebyandibadde na makulu, era tebandibadde na ssuubi lya bulamu obutaggwaawo. (1 Abakkolinso 15:14) Ku luuyi olulala, ebintu ebyo bwe biba nga byaliyo, ebiseera by’abantu bonna eby’omu maaso biba bitangaavu. Naye ddala ebikwata ku Yesu ebyogerwako mu bitabo by’Enjiri byaliyo?

OBUKAKAFU OBULAGA NTI YESU YALIYO

Obutafaananako nfumo z’abantu, ebyo abawandiisi b’Enjiri bye baawandiika bituufu era biwa kalonda yenna atuyamba okumanya ebyo ebyaliwo. Ng’ekyokulabirako, baawandiika amannya g’ebifo bingi ebikyaliwo ne leero. Baawandiika ku bantu abaaliyo ddala era aboogerwako ne mu bitabo eby’ebyafaayo.​—Lukka 3:1, 2, 23.

Yesu kennyini ayogerwako ne mu bitabo bya bannabyafaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka n’eky’okubiri. * Engeri Yesu gye yattibwamu eyogerwako mu bitabo by’Enjiri ekwatagana n’ebyo bannabyafaayo bye boogera ku ngeri Abaruumi gye battangamu abantu mu kiseera ekyo. Ate era, ebintu ebyogerwako bituufu era byawandiikibwa mu bwesimbu. Abawandiisi abo baawandiika ne ku nsobi abamu ku bayigirizwa ba Yesu ze baakola. (Matayo 26:56; Lukka 22:24-26; Yokaana 18:10, 11) Ebyo byonna bikakasa nti ebyawandiikibwa mu bitabo by’Enjiri ebikwata ku Yesu bituufu.

BUKAKAFU OBULAGA NTI YESU YAZUUKIRA?

Wadde ng’abantu bangi bakkiriza nti Yesu yaliyo era nti yafa, bangi babuusabuusa obanga yazuukira, era n’abatume be tebaasooka kukkiriza. (Lukka 24:11) Naye baggwaamu okubuusabuusa bwe baamulaba emirundi egiwerako era ne bakimanya nti yalabikira n’abayigirizwa abalala. Mu butuufu, lumu yalabikira abayigirizwa abasukka mu 500.​—1 Abakkolinso 15:6.

Abayigirizwa be baabuulira ebikwata ku kuzuukira kwe n’obuvumu, era baabuulira n’abo abamutta wadde ng’ekyo kyali kiyinza okubaviirako okusibibwa oba okuttibwa. (Ebikolwa 4:1-3, 10, 19, 20; 5:27-32) Abayigirizwa abo bandibuulidde n’obuvumu bwe batyo singa tebaali bakakafu nti Yesu yali azuukiziddwa? Mu butuufu, okuba nti Yesu yazuukira kye kintu ekyaleetera Obukristaayo okubuna mu nsi yonna okuva mu kiseera ekyo okutuusa kati.

Waliwo obukakafu obw’enkukunala obulaga nti ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri ebikwata ku kufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe bituufu. Bw’onoosoma ebitabo by’Enjiri naawe ojja kukakasa nti ebintu ebyo ddala byaliyo. Ate era ojja kweyongera okukakasa by’osoma singa onootegeera ensonga lwaki Yesu yabonaabona era n’afa. Ekitundu ekiddako kigenda kwogera ku nsonga eyo.

^ lup. 3 Tacitus, eyazaalibwa awo nga mu mwaka gwa 55 E.E., yawandiika nti “Kristo, erinnya Abakristaayo mwe lyasibuka, yabonyaabonyezebwa nnyo mu kiseera ky’obufuzi bwa Tiberiyo nga Pontiyo Piraato ye gavana.” Ate era waliwo bannabyafaayo abalala abaayogera ku Yesu, gamba nga Suetonius (ow’omu kyasa ekyasooka); munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus (ow’omu kyasa ekyasooka); ne Pliny the Younger, gavana w’e Bisuniya (ku ntandikwa y’ekyasa eky’okubiri).

^ lup. 7 E.E., kitegeeza Embala Eno ate E.E.T., kitegeeza Embala Eno nga Tennatandika