Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kozesa Bulungi Ekirabo eky’Eddembe ery’Okwesalirawo

Kozesa Bulungi Ekirabo eky’Eddembe ery’Okwesalirawo

“Omwoyo gwa Yakuwa we guba wabaawo eddembe.”2 KOL. 3:17.

ENNYIMBA: 62, 65

1, 2. (a) Ndowooza ki ez’enjawulo abantu ze balina bwe kituuka ku ddembe ery’okwesalirawo? (b) Bayibuli eyogera ki ku ddembe ery’okwesalirawo, era bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

OMUKAZI omu bwe yali alina ekintu ky’ayagala okusalawo, yagamba mukwano gwe nti: “Mbuulira bubuulizi eky’okukola. Ekyo kyangu.” Omukazi oyo yali ayagala bamubuulire bubuulizi eky’okukola mu kifo ky’okukozesa ekirabo Katonda kye yamuwa eky’eddembe ery’okwesalirawo. Ate ggwe? Oyagala okwesalirawo oba oyagala abalala be baba bakusalirawo? Eddembe ly’okwesalirawo olitwala otya?

2 Abantu bangi balina endowooza za njawulo bwe kituuka ku nsonga eyo. Abamu bagamba nti tewali n’omu alina ddembe lya kwesalirawo kubanga buli kye tukola Katonda yakisalawo dda. Abalala bagamba nti singa tuba n’eddembe ery’enkomeredde, awo nno tuba tulina eddembe ery’okwesalirawo. Kyokka bwe tuba twagala okutegeera obulungi ensonga eyo, tusaanidde okwetegereza ekyo Bayibuli ky’egamba. Lwaki? Bayibuli ekiraga nti Katonda yatutonda nga tulina eddembe ery’okwesalirawo; kwe kugamba, nga tusobola okukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza okusalawo ku bintu ebitali bimu. (Soma Yoswa 24:15.) Bayibuli era eddamu ebibuuzo nga bino: Eddembe lyaffe ery’okwesalirawo tulina kulikozesa tutya? Eddembe eryo liriko ekkomo? Engeri gye tukozesaamu eddembe eryo eyoleka etya okwagala kwe tulina eri Yakuwa? Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu ebyo abalala bye baba basazeewo?

KYE TUYIGIRA KU YAKUWA NE YESU

3. Yakuwa atuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gy’akozesaamu eddembe lye?

3 Yakuwa yekka y’alina eddembe ery’enkomeredde, naye eddembe eryo alikozesa bulungi. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yasalawo okulonda eggwanga lya Isirayiri okuba “ekintu kye ekiganzi.” (Ma. 7:6-8) Lwaki yasalawo bw’atyo? Yakuwa yali atuukiriza ekyo kye yali yasuubiza mukwano gwe Ibulayimu emyaka mingi emabega. (Lub. 22:15-18) Ate era Yakuwa akozesa eddembe lye mu ngeri eyoleka okwagala era ey’obwenkanya. Ekyo tukirabira ku ngeri gye yakangavvulangamu Abayisirayiri nga bavudde ku kusinza okw’amazima. Abayisirayiri bwe beenenyanga Yakuwa yabalaganga okwagala n’ekisa. Yabagamba nti: ‘Ndibawonya obutali bwesigwa bwammwe. Ndibaagala okuviira ddala ku mutima.’ (Kos. 14:4) Engeri Yakuwa gy’akozesaamu eddembe lye eganyula abalala.

4, 5. (a) Ani Katonda gwe yasooka okuwa eddembe ery’okwesalirawo, era yalikozesa atya? (b) Kibuuzo ki buli omu ku ffe ky’asaanidde okwebuuza?

4 Yakuwa bwe yatonda ebintu, yasalawo okuwa ebitonde bye byonna ebitegeera eddembe ery’okwesalirawo. Ekitonde kye yasooka okuwa eddembe ery’okwesalirawo ye Mwana we eyazaalibwa omu yekka, era ‘ekifaananyi kya Katonda atalabika.’ (Bak. 1:15) Ne bwe yali nga tannajja ku nsi, Yesu yasalawo okusigala nga mwesigwa eri Kitaawe n’agaana okwegatta ku Sitaani okujeemera Katonda. Oluvannyuma, Yesu bwe yajja ku nsi, yakozesa eddembe lye ery’okwesalirawo n’aziyiza ebikemo bya Sitaani. (Mat. 4:10) Ate mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yakiraga nti mumalirivu okukola Katonda by’ayagala bwe yasaba Katonda ng’agamba nti: “Kitange, bw’oba oyagala nzigyaako ekikopo kino. Naye kye njagala si kye kiba kikolebwa wabula ggwe ky’oyagala.” (Luk. 22:42) Naffe tusaanidde okukoppa Yesu nga tukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo okukola Katonda by’ayagala. Naye ddala ekyo kisoboka?

5 Tusobola okukoppa Yesu kubanga naffe twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Lub. 1:26) Wadde kiri kityo, eddembe lyaffe liriko ekkomo. Tetulina ddembe lya nkomeredde nga Yakuwa ly’alina. Ekigamba kya Katonda kiraga nti eddembe lyaffe liriko ekkomo, era nti tulina okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa. Ate era abakazi balina okugondera babbaabwe n’abaana balina okugondera bazadde baabwe. (Bef. 5:22; 6:1) Okuba nti eddembe lyaffe liriko ekkomo kyandikutte kitya ku ngeri gye tweyisaamu? Eky’okuddamu mu kibuuzo kino kikwata ku biseera byaffe eby’omu maaso.

ENGERI GYE TUSAANIDDE OKUKOZESAAMU EDDEMBE ERY’OKWESALIRAWO

6. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki kyetaagisa eddembe lye tulina okubaako ekkomo.

6 Okuba nti eddembe lyaffe ery’okwesalirawo liriko ekkomo kiraga nti eddembe lye tulina si lya nnamaddala? Nedda! Lwaki tuyinza okugamba bwe tutyo? Eddembe ly’abantu bwe liteekebwako ekkomo kiba kya bukuumi gye bali. Ng’ekyokulabirako, tusobola okukozesa eddembe lyaffe okusalawo okugenda mu kibuga ekyesudde. Naye ddala twandiwulidde tutya singa ekkubo lye tulina okuyitamu nga tugenda tekuli mateeka gafuga bidduka; buli omu nga yeesalirawo sipiidi gy’ayagala okuvugirako na ludda ki olw’ekkubo lw’ayagala okuvugirako? Kya lwatu nti tuwulira ng’obulamu bwaffe buli mu kabi. N’olwekyo, abantu okusobola okuba n’eddembe erya nnamaddala, eddembe lye balina lyetaaga okuteekebwako ekkomo. Kati ka tulabeyo ebyokulabirako ebiraga nti kikulu okukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo nga tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa.

7. (a) Eddembe ly’okwesalirawo Adamu lye yalina lyamufuula litya ow’enjawulo ku nsolo? (b) Yogera ku ngeri emu Adamu gye yakozesaamu eddembe lye ery’okwesalirawo.

7 Yakuwa bwe yatonda Adamu, omuntu eyasooka, naye yamuwa eddembe ery’okwesalirawo ng’eryo lye yawa bamalayika. Ekyo kyafuula Adamu okuba ow’enjawulo ku nsolo, kubanga zo ensolo tezirina busobozi bwa kulowooza na kwesalirawo. Lowooza ku ngeri emu ennungi Adamu gye yakozesaamu eddembe lye ery’okwesalirawo. Ensolo ze zaasooka okutondebwa nga Adamu tannatondebwa. Naye enkizo ey’okutuuma ensolo amannya Katonda yagiwa Adamu. Katonda ‘yaleeta ensolo eri omuntu alabe buli emu bw’anaagiyita.’ Adamu bwe yamala okwetegereza ensolo era buli emu n’agiwa erinnya erigisaanira, Yakuwa teyakyusa mannya ga nsolo ezo. Mu kifo ky’ekyo, ‘buli emu erinnya Adamu lye yagituuma lye lyaba erinnya lyayo.’Lub. 2:19.

8. Adamu yakozesa atya obubi eddembe lye ery’okwesalirawo, era kiki ekyavaamu?

8 Eky’ennaku, Adamu teyali mumativu n’obuvunaanyizibwa Yakuwa bwe yamuwa obw’okulima n’okulabirira olusuku Edeni. Era teyali mumativu n’eddembe Katonda lye yali amuwadde bwe yamugamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo, era mufugenga ebyennyanja n’ebiramu ebibuuka mu bbanga n’ensolo zonna eziri ku nsi.” (Lub. 1:28) Mu kifo ky’ekyo, yasalawo okujeemera Katonda n’alya ku muti gwe yali amugaanye okulyako. Okuba nti Adamu yakozesa bubi eddembe lye ery’okwesalirawo kiviiriddeko abantu okubonaabona okumala ebyasa n’ebyasa by’emyaka. (Bar. 5:12) Ekyo kitulaga ensonga lwaki kikulu okukozesa obulungi eddembe ly’okwesalirawo Yakuwa lye yatuwa, nga tukolera ku bulagirizi bw’atuwa.

9. Ddembe ki Yakuwa lye yawa Abayisirayiri, era kiki Abayisirayiri kye baasuubiza?

9 Abantu bonna baasikira ekibi n’okufa okuva ku Adamu ne Kaawa. Wadde kiri kityo, abantu bakyalina eddembe ery’okwesalirawo. Kino tukirabira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isirayiri. Okuyitira mu muweereza we Musa, Yakuwa yawa Abayisirayiri eddembe okusalawo okukkiriza oba okugaana okuba ekintu kye ekiganzi. (Kuv. 19:3-6) Kiki Abayisirayiri kye baakola? Beeyama okutuukiriza ebyo Katonda bye yali abagambye okukola okusobola okuba ekintu kye ekiganzi, ne bagamba nti: “Byonna Yakuwa by’ayogedde tuli beetegefu okubikola.” (Kuv. 19:8) Kyokka ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Abayisirayiri baakozesa bubi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo ne bamenya endagaano gye baali bakoze ne Yakuwa. Obutafaananako Bayisirayiri, tusaanidde okufuba okukozesa obulungi eddembe lyaffe ery’okwesalirawo nga tweyongera okunywerera ku Yakuwa n’okumugondera.1 Kol. 10:11.

10. Byakulabirako ki ebiraga nti n’abantu abatatuukiridde basobola okukozesa eddembe lyabwe ery’okwesalirawo mu ngeri esanyusa Katonda? (Laba ekifaananyi ku lupapula 12.)

10 Abebbulaniya essuula 11, eyogera ku mannya g’abaweereza ba Katonda 16 abaakozesa obulungi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo. N’ekyavaamu, baafuna emikisa mingi era baanyweza essuubi lyabwe. Ng’ekyokulabirako, Nuuwa yayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe yagondera Katonda n’azimba eryato ne kiyamba ab’omu maka ge okuwonawo. (Beb. 11:7) Ibulayimu ne Saala baagondera Katonda ne bagenda mu nsi gye yali abagambye okugenda. Bwe baali bagenda, baali basobola okusalawo okuddayo mu kibuga ky’e Uli. Naye mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo byabwe baabiteeka ku bisuubizo bya Katonda. Mu butuufu ‘baaluubirira ekifo ekisingako obulungi.’ (Beb. 11:8, 13, 15, 16) Musa yeerekereza eby’obugagga ebyali mu Misiri, “n’alondawo okuyisibwa obubi ng’ali wamu n’abantu ba Katonda, mu kifo ky’okubeera mu ssanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera.” (Beb. 11:24-26) Tusaanidde okukoppa abaweereza ba Katonda abo abaali abeesigwa nga tukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo okukola Katonda by’ayagala.

11. (a) Ogumu ku mikisa gye tufuna nga tukozesezza bulungi eddembe lyaffe ery’okwesalirawo gwe guluwa? (b) Kiki ekikukubiriza okukozesa obulungi eddembe lyo ery’okwesalirawo?

11 Bwe tuleka abalala okutusalirawo, tufiirwa emikisa egiva mu kukozesa obulungi ekirabo Katonda kye yatuwa eky’eddembe ery’okwesalirawo. Ogumu ku mikisa egyo gwogerwako mu Ekyamateeka 30:19, 20. (Soma.) Olunyiriri 19 lwogera ku kintu Katonda kye yagamba Abayisirayiri okwesalirawo. Olunyiriri 20 lulaga nti Yakuwa yawa Abayisirayiri akakisa okulaga ekyo kyennyini ekyali mu mitima gyabwe. Naffe tusobola okusalawo okuweereza Yakuwa. Yakuwa atuwadde enkizo okukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo okukiraga nti tumwagala n’okukiraga nti tumuwa ekitiibwa n’ettendo.

WEEWALE OKUKOZESA OBUBI EDDEMBE LYO ERY’OKWESALIRAWO

12. Kiki kye tusaanidde okwewala?

12 Watya singa obaako mukwano gwo gw’owa ekirabo. Kya lwatu kikuyisa bubi singa okimanya nti ekirabo ekyo yakisudde mu kasasiro oba nti yakikozesezza okulumya abalala. Yakuwa kiteekwa okuba nga kimuyisa bubi nnyo okulaba ng’abantu bangi bakozesa bubi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo, abamu ne batuuka n’okulikozesa okulumya abalala. Bayibuli yagamba nti, mu “nnaku ez’enkomerero” abantu bandibadde “tebeebaza.” (2 Tim. 3:1, 2) N’olwekyo, tusaanidde okwewala okukozesa obubi ekirabo eky’omuwendo Katonda kye yatuwa eky’eddembe ery’okwesalirawo. Kati olwo tuyinza tutya okwewala okukozesa obubi ekirabo ekyo?

13. Engeri emu gye tuyinza okwewalamu okukozesa obubi eddembe lye tulina y’eruwa?

13 Ffenna tulina eddembe ery’okwesalirawo bwe kituuka ku kulonda emikwano, bye twambala, n’engeri y’okwesanyusaamu. Kyokka singa tusalawo okugoberera okwegomba okubi okw’emibiri gyaffe, okukoppa emisono gy’engoye ezitasaana, oba okwesanyusaamu mu ngeri etesaana, tuba tukozesezza eddembe lyaffe ery’okwesalirawo “ng’ekyekwaso okukola ebintu ebibi.” (Soma 1 Peetero 2:16.) Mu kifo ky’okukozesa eddembe lyaffe “ng’eky’okusinziirako okugoberera okwegomba okw’omubiri,” tusaanidde okusalawo mu ngeri etusobozesa okukolera ku kubuulirira okugamba nti: “Mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.”Bag. 5:13; 1 Kol. 10:31.

14. Okwesiga Yakuwa kikwata kitya ku ngeri gye tukozesaamu eddembe lyaffe ery’okwesalirawo?

14 Engeri endala gye tuyinza okwewala okukozesa obubi eddembe lyaffe ery’okwesalirawo kwe kwesiga Yakuwa n’okukolera ku bulagirizi bw’atuwa. Yakuwa yekka ‘y’atuyigiriza tusobole okuganyulwa,era atukulembera mu kkubo lye tusaanidde okukwata.’ (Is. 48:17) Tusaanidde okukimanya nti: “Omuntu talina buyinza kweruŋŋamya. Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.” (Yer. 10:23) Tusaanidde okwewala okwesigama ku kutegeera kwaffe, nga Adamu n’Abayisirayiri abaali abajeemu bwe baakola. Mu kifo ky’ekyo, tulina ‘okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.’Nge. 3:5.

OKUSSA EKITIIBWA MU DDEMBE LY’ABALALA ERY’OKWESALIRAWO

15. Kiki kye tuyigira ku musingi oguli mu Abaggalatiya 6:5?

15 Tusaanidde okukimanya nti abalala nabo balina eddembe lyabwe ery’okwesalirawo. Okuva bwe kiri nti buli omu alina eddembe ery’okwesalirawo, bye tusalawo oluusi biyinza obutafaanagana. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku ngeri gye tweyisaamu oba engeri gye tuweerezaamu Yakuwa. Lowooza ku musingi oguli mu Abaggalatiya 6:5. (Soma.) Bwe tukijjukira nti buli Mukristaayo “ajja kwetikka obuvunaanyizibwa bwe,” kijja kutukubiriza okussa ekitiibwa mu ddembe ly’abalala ery’okwesalirawo.

Tusobola okwesalirawo awatali kuyingirira ddembe ly’abalala ery’okwesalirawo (Laba akatundu 15)

16, 17. (a) Mbeera ki enzibu eyaliwo mu Kkolinso? (b) Pawulo yayamba atya bakkiriza banne mu Kkolinso okutereeza embeera eyo, era bye yayogera bituyigiriza ki?

16 Lowooza ku kyokulabirako kino ekiraga ensonga lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu ebyo bakkiriza bannaffe bye baba basazeewo nga basinziira ku muntu waabwe ow’omunda. Abakristaayo mu Kkolinso baafuna obutakkaanya olw’okuba abamu ku bo baalyanga ennyama eyabanga eweereddwayo eri ebifaananyi naye oluvannyuma n’etundibwa mu katale. Abamu baali bakitwala nti okuva bwe kiri nti ebifaananyi tebirina mugaso, ennyama eyo yali esobola okuliibwa. Kyokka abamu edda abaasinzanga ebifaananyi bo baali bakitwala nti okulya ennyama eyo kuba kusinza bifaananyi. (1 Kol. 8:4, 7) Ensonga eyo yali esobola okuleetawo enjawukana mu kibiina. Pawulo yayamba atya Abakristaayo mu Kkolinso okumanya endowooza ya Katonda ku nsonga eyo?

17 Okusookera ddala, Pawulo yabayamba okukimanya nti eby’okulya si bye byandibaleetedde okusiimibwa Katonda. (1 Kol. 8:8) Oluvannyuma yabakubiriza okwewala okukozesa ‘eddembe lye baalina ery’okwesalirawo okwesitazza abanafu.’ (1 Kol. 8:9) Era yakubiriza abo abalina omuntu ow’omunda omunafu okwewala okusalira musango abo abaali balya ennyama eyo. (1 Kol. 10:25, 29, 30) Bwe kityo, Pawulo yakiraga nti ku nsonga eyo enkulu eyalina akakwate n’okusinza okw’amazima, buli Mukristaayo yalina okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda. Olowooza ekyo naffe tekyanditukubirizza okussa ekitiibwa mu ebyo bakkiriza bannaffe bye baba basazeewo nga basinziira ku muntu waabwe ow’omunda, naddala bwe kituuka ku nsonga entonotono?1 Kol. 10:32, 33.

18. Tukiraga tutya nti tusiima ekirabo Katonda kye yatuwa eky’eddembe ery’okwesalirawo?

18 Yakuwa yatuwa ekirabo eky’omuwendo eky’eddembe ery’okwesalirawo. (2 Kol. 3:17) Ekirabo ekyo tukitwala nga kya muwendo nnyo kubanga kitusobozesa okusalawo mu ngeri eraga nti twagala Yakuwa. N’olwekyo, ka ffenna tukirage nti tusiima ekirabo ekyo Katonda kye yatuwa nga tufuba okukikozesa mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa era nga tussa ekitiibwa mu ddembe ly’abalala ery’okwesalirawo.