Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tekinologiya Akutte Atya ku Bufumbo Bwo?

Tekinologiya Akutte Atya ku Bufumbo Bwo?

Tekinologiya bw’aba akozeseddwa bulungi, asobola okunyweza enkolagana ebaawo wakati w’omwami n’omukyala. Ng’ekyokulabirako, basobola okuwuliziganya olunaku lwonna.

Kyokka abafumbo abamu bakkiriza tekinologiya . . .

  • okubatwalako ebiseera bye bandimaze nga bali bombi.

  • okubaleetera okukolera awaka ebintu bye bandibadde bakolera ku mulimu.

  • okubaleetera buli omu okutandika okwekengera munne n’obutaba beesigwa.

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

OKUBAAKO AWAMU

Omwami ayitibwa Michael agamba nti: “Oluusi nze ne mukyala wange bwe tuba nga tuli wamu, ye aba ng’ataliiwo. Aba yeemalidde ku ssimu ye, era agamba nti, ‘Saafunye ku kadde kutunula ku ssimu yange.’” Omwami ayitibwa Jonathan agamba nti: “Mu mbeera ng’eyo abafumbo baba wamu, kyokka buli omu abanga ali ewala okuva awali munne.”

EKY’OKULOWOOZAAKO: Mirundi emeka gy’oba ng’oyogera ku ssimu oba ng’osindika mesegi mu kiseera kye wandimaze ng’onyumyako ne munno?​—ABEEFESO 5:33.

OMULIMU

Abantu abamu emirimu gyabwe gibeetaagisa okubeera mu masima ekiseera kyonna, ne mu budde obw’ekiro. Kyokka n’abantu abalina emirimu egitabeetaagisa kukola kumala kiseera kiwanvu, oluusi kibazibuwalira okulekera awo okukola ku nkomerero y’olunaku. Omwami ayitibwa Lee agamba nti: “Bwe bankubira essimu ezikwata ku mulimu mu kiseera kye nnassaawo okubeerako ne mukyala wange, kimbeerera kizibu obutazikwata. Omukyala ayitibwa Joy agamba nti: “Emirimu gyange ngikolera waka, era buli kiseera gibaawo. Naye kimbeerera kizibu okwefuga.”

EKY’OKULOWOOZAAKO: Ossaayo omwoyo ng’omwami wo oba mukyala wo ayogera naawe?​—LUKKA 8:18.

OBWESIGWA

Okunoonyereza okumu kwalaga nti abafumbo bangi baafunako obutakkaanya ne bannaabwe mu bufumbo, olw’ebyo bannaabwe bye bateeka ku mikutu emigattabantu. Abantu kkumi ku kikumi ku abo abaabuuzibwa ebibuuzo baagamba nti bassa ebintu ku mikutu emigattabantu bye batayagala munaabwe mu bufumbo alabe.

Abantu bangi bagamba nti emikutu emigattabantu gisobola okuba “egy’akabi ennyo eri abafumbo” era nti, gikifudde kyangu eri abafumbo “okwenda.” Tekyewuunyisa nti bannamateeka abakola ku by’okugattulula abafumbo bagamba nti emikutu emigattabantu giviiriddeko obufumbo bungi okusattulukuka.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Olina omuntu gw’owuliziganya naye, kyokka nga toyagala munno mu bufumbo amanye?​—ENGERO 4:23.

KY’OYINZA OKUKOLA

KULEMBEZA EBISINGA OBUKKULU

Omuntu atayagala kulya mmere, obulamu bwe bukosebwa. Mu ngeri y’emu, omuntu atawaayo biseera kubeerako ne munne mu bufumbo, obufumbo bwe bubaamu ebizibu bingi.​—Abeefeso 5:28, 29.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’​—ABAFIRIPI 1:10.

Mukubaganye ebirowoozo ku magezi agaweereddwa wammanga, oba muwandiike ebinaabayamba okukozesa tekinologiya mu ngeri etaakose bufumbo bwammwe.

  • Muliireko wamu waakiri omulundi gumu buli lunaku

  • Musseewo ekiseera eky’okuggyako kompyuta oba essimu zammwe

  • Musseewo ekiseera eky’okukolerako awamu ebintu bye munyumirwa

  • Muggyeeko essimu oba kompyuta mu budde obw’ekiro era temuziteeka kumpi n’obuliri

  • Musseewo eddakiika 15 buli lunaku okunyumyako nga temulina kompyuta oba ssimu

  • Musseewo ekiseera eky’okuggyako Intaneeti