Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OBUFUMBO

Engeri Gye Muyinza Okwogera ku Bizibu Ebiba Bizzeewo

Engeri Gye Muyinza Okwogera ku Bizibu Ebiba Bizzeewo

OKUSOOMOOZA

Ggwe ne munno mu bufumbo bwe mugezaako okwogera ku kizibu ekiba kizzeewo, mwesanga nga mweyongedde butakwatagana? Bwe kiba kityo, waliwo ekisobola okubayamba. Ekisooka, mulina okumanya enjawulo eriwo wakati w’abasajja n’abakazi bwe kituuka ku mpuliziganya. *

BY’OSAANIDDE OKUMANYA

Abakazi batera okwagala okwogera ku kizibu nga tebannawulira ngeri ya kukigonjoolamu. Mu butuufu, oluusi kye baba beetaaga kyokka kwe kwogera obwogezi ku kizibu.

“Mpulira bulungi bwe mbuulira omwami wange engeri gye nneewuliramu era n’akiraga nti antegedde bulungi. Bwe mmala okwogera ku kizibu, wayita akaseera katono ne mpulira nga nteredde.”—Sirppa. *

“Bwe sifuna kakisa kubuulira mwami wange engeri gye nneewuliramu, ekizibu tekinva ku mutima. Bwe njogera ku kizibu kyange, mpulira obuweerero.”—Ae-Jin.

“Kino nkigeraageranya ku kunoonyereza. Bwe mba njogera, kinnyamba okutegeera obulungi ekizibu kyange ne mmanya kwe kyavudde.”—Lurdes.

Abasajja batera kulowooleza mu kugonjoola kizibu. Ekyo tekyewuunyisa, kubanga omusajja bw’agonjoola ekizibu, awulira nga wa mugaso. Bw’abuulira mukyala we engeri ekizibu gye kiyinza okugonjoolwamu aba ng’amugamba nti “Nsobola okukuyamba.” N’olwekyo, omusajja kimukola bubi bw’awa mukyala we amagezi omukyala n’atagakkiririzaawo. Omusajja omu ayitibwa Kirk yagamba nti: “Kinsobera omuntu okumbuulira ekizibu naye nga tayagala kumanya ngeri ya kukigonjoolamu!”

Ekitabo ekimu ekiwa amagezi ku bufumbo kigamba nti: “Omuntu nga tannawa magezi alina okusooka okutegeera ensonga. Nga tonnawa munno magezi ku ngeri y’okugonjoolamu ekizibu, olina okusooka okulaga nti otegeera bulungi ky’akugamba era nti omulumirirwa. Emirundi egisinga munno aba takusaba kumuwa magezi, wabula aba ayagala kumuwuliriza.”

KY’OYINZA OKUKOLA

Abaami: Mufube okuwuliriza n’okutegeera obulungi bakyala bammwe. Omwami ayitibwa Tomás agamba nti: “Oluusi bwe mmala okuwuliriza mukyala wange, mpulira nga sirina kya maanyi kye nkozeewo. Naye emirundi mingi ekyo mukyala wange ky’aba ayagala.” Omwami ayitibwa Stephen naye agamba nti: “Nkizudde nti kya magezi okuleka mukyala wange okwogera ebyo byonna ebimuba ku mutima nga simusaze kirimi. Emirundi egisinga bw’amala okwogera aŋŋamba nti aba awulira bulungi.”

Gezaako kino: Ku mulundi gw’onoddako okwogera ne mukyala wo ku kizibu ky’alina, gezaako okwewala okumuwa amagezi nga tagakusabye. Mutunuulire era osseeyo omwoyo ku by’akugamba. Oyinza n’okunyeenya ku mutwe okulaga nti otegeera ky’agamba. Oyinza n’okuddamu ezimu ku nsonga z’ayogedde okulaga nti ozitegedde bulungi. Omwami omu ayitibwa Charles agamba nti: “Ebiseera ebimu mukyala wange ky’aba yeetaaga kwe kumanya nti mmutegeera era nti ndi ku ludda lwe.”Amagezi Bayibuli g’ewa: Yakobo 1:19.

Abakyala: Mubuulire abaami bammwe ekyo kyennyini kye mwagala. Omukyala omu ayitibwa Eleni agamba nti: “Tuyinza okusuubira nti abaami baffe baba bamanyi ekyo kyennyini kye twagala, naye emirundi egimu twetaaga okukibategeeza.” Omukyala ayitibwa Ynez agamba nti: “Nnyinza okugamba omwami wange nti, ‘Waliwo ekintawaanya, nga kye njagala kwe kuba nti awuliriza ekyo kye mba ŋŋenda okumugamba. Mba saagala ampe magezi, naye mba njagala ategeere engeri gye nneewuliramu.’”

Gezaako kino: Omwami wo bw’ayanguyiriza okukuwa amagezi toyanguwa kulowooza nti takufaako. Ayinza okuba ng’agezaako okunoonya engeri ey’okukuyambamu. Omukyala ayitibwa Ester agamba nti: “Mu kifo ky’okunyiiga, ngezaako okukijjukira nti omwami wange anfaako, ayagala okumpuliriza, era nti ayagala okunnyamba.”Amagezi Bayibuli g’ewa: Abaruumi 12:10.

Abaami n’abakyala: Tutera okuyisa abalala nga bwe twandyagadde batuyise. Naye omwami n’omukyala bwe baba boogera ku bizibu ebiba bizzeewo, buli omu yeetaaga okulowooza ku ngeri munne gye yandyagadde ayisibwemu. (1 Abakkolinso 10:24) Omwami ayitibwa Miguel agamba nti: “Bw’oba oli mwami mu maka, beera mwetegefu okuwuliriza mukyala wo. Bw’oba ng’oli mukyala, ebiseera ebimu suubira omwami wo okukuwa amagezi. Buli omu bw’ategeera munne, kijja kubayamba nnyo.”Amagezi Bayibuli g’ewa: 1 Peetero 3:8.

^ lup. 4 Ebintu bye tugenda okwogerako mu kitundu kino biyinza obutakwata ku buli musajja oba ku buli mukazi. Naye amagezi okuva mu Bayibuli agaweereddwa mu kitundu kino gasobola okuyamba omuntu yenna omufumbo okumanya engeri ennungi ey’okwogeramu ne munne.

^ lup. 7 Amannya mu kitundu kino gakyusiddwa.